TOP

Bakutte ababadde babbirira ettaka ly'omulamuzi e Namanve

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2016

Bakutte ababadde babbirira ettaka ly'omulamuzi e Namanve

Kab1 703x422

POLIISI ya Bweyogerere mu Kira municipality ekutte abasajja 6 okuli Musa Kalibbala, Edward Nsubuga,  Simon Kigozi, Livingstone Kigozi,  John Nsereko,ne Richard Ssemwanga nga bano babadde babbirira ku ttaka ly'omulamuzi wa court of appeal  Owiny Dollo e Namanve.

Bano okukwatibwa kiddiridde okuyoola nga ettaka mu kifo ky'omulamuzi  Owiny Dollo  e Namanve nga tebafunye lukusa kuva gyali nga baliyiwa mu kibangirizi webagenda okuzimba fakitole.

Okusinziira ku Oc Gideon Byomuhangi atwala poliisi ya Bweyogerere, abakwate bano balabuddwa  enfunda eziwera balekere awo okuyoola ettaka lye, kyokka bwebaalaba ensonga agiremeddeko, kwekukyusaamu nebatandika okuliyoola ekiro nga balujjuuliriza mu lutobazi e Namanve webaagala okuzimba.

Poliisi ye Bweyogerere nga yeegasseeko abasirikale abakuuma omulamuzi ono kwekusitukiramu nebakwata abo bebasanze bayoola ettaka nebimotoka ebibadde birisomba okulisima, wabula ng'omu kubabadde babakulira Musa Kalibbala abadde adduse, abasirikale nebamusimbako okutuusa bwebamukutte.  Babaguddeko omusango ku ffayiro namba SD REF;22/27/07/2016 ku poliisi e Bweyogerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda