TOP

Mwegendereze ebigambo bya bannabyabufuzi-Ian Kyeyune

By Musasi wa Bukedde

Added 28th July 2016

Mwegendereze ebigambo bya bannabyabufuzi-Ian Kyeyune

Ian1 703x422

Ian Kyeyune

OMUBAKA wa pulezidenti mu disitulikiti ye Wakiso Ian Kyeyune akubirizza ba town clerk ba munisipaali okwewala bannabyabufuzi okusobola okusoloza omusolo oguwerako mu bitundu byabya.

Bino Kyeyune abyogeredde mu lukiiko mw'asisinkanidde ba town clerk okuva mu munisipaali z’omu Wakiso ku lwokusatu mu ofiisi ye.

Kyeyune ategeezezza nti bannaby’abufuzi bajja kwagala okusasula abantu baabwe abaabanoonyeza obululu nga babafunira tenda ku munisipaali nga tebafuddeyo ku nnyingiza ya munisipaali ekintu ekiyinza okugotaanya enkulaakulana.

 “Omusolo kintu kikulu nnyo singa mwagala okulaakulanya munisipaali ze mukulembera era mulina okulaba nga tenda zino ziyita mu mitendera emituufu ng’abantu bavuganya okuzifuna okusinga omuntu omu okugamba nti muyambe oyiseewo omuntu we”Kyeyune bwe yategeezezza.  

Kyeyune ayongeddeko nti ba town clerk balina okulaba nga bateeka mu nkola manifesito ye kibiina kya NRM nti era gavumenti eno teguminkiriza muntu yenna atateeka manifesito ya NRM mu nkola.

Kyeyune akubirizza ba town clerk bano okulaba nga basitula embeera z’abantu mu bitundu byabwe nga bakola ebintu bye balina okola omuli okulima enguudo,okuzimba obutale abantu basobole okutunda ebirime byabwe,okuteekerateekera obulungi munisipaali zaabwe okwewala omugoteko ssaako n’okuyola kasasira okwewala endwadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip1 220x290

Sharif Bogere asomesezza abazannyi...

Sharif Bogere asomesezza abazannyi b'e bikonde e Lugogo

Kab2 220x290

Kabushenga bamwongedde ekisanja...

Kabushenga bamwongedde ekisanja ky'okutegeka emisinde gya Kabaka

Fot1 220x290

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu...

Dcu etunuzza Weatherhead ebikalu mu Hockey

Waliyoomutweogulumiramuliisowebuse 220x290

Engeri ez’enjawulo obulumi bw’omutwe...

Manya ekika ky'omutwe ekiranga endwadde ekutawaanya n'eky'okukola nga tonnatuuka mu ddwaaliro okugukkakkanya

Web2 220x290

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino...

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi