TOP

Ababadde bateega Abasuubuzi ne babanyaga Poliisi ebakutte

By Moses Lemisa

Added 28th July 2016

Ababadde bateega Abasuubuzi ne babanyaga Poliisi ebakutte

Mu1 703x422

POLIISI ekutte abavubuka ab'efudde abasirikale ne bateega omusuubuzi ne bamunyagako ssente Mu Kiro ekyakesezza ku Lwokusatu.

Poliisi y’oku Kaleerwe yakutte John Kabuusu , Ibrahim Lubowa , Abdu Nyanzi  n’omulala eyagaanye okwogera amanya ge  nga bonna  bakolera mu lufula ya Mbuzi ku Kaleerwe  oluvannyuma lwa Musa Hanani omutuuze w’ekiryandongo ng’asuubula mbuzi n’azireeta ku Kaleerwe okubalonkoma nga bwe baamuteeze mu kiro ekyakesezza ku Lwokusatu ne bamubbako  emitwalo musanvu n’ekitundu  nga babadde bagala n’okumutwalako embuzi ze yabadde aleese nakuba enduulu.

Hanani yategeezezza nti abavubuka bano babadde tebasalikako musale nga baamuteegedde ku luguudo olugenda mu lufula y’oku Kaleerwe nga bamukwata ne bamuggyamu ssente nga beefuddle abasirikale bwe yalabye bamuggyako ne mbuzi 6 ze yabadde aleese n'akuba enduulu abantu ne bamuddukirira ekiro ssaawa mukaaga .

Baguddwako omusango ku fayiro nnamba SD REF:04/27/07/2016 Abasuubuzi b’omu Lufula baategeezezza nti  abavubuka bano bamanyikiddwa nti emisana bantu balamu ekiro ne bafuuka ab’omutawaana nga bateega abasuubuzi  ne babanyagako ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...