TOP

Abadde yaakava ku kyeyo e Dubai bamusse

By Musasi wa Bukedde

Added 31st July 2016

Abadde yaakava ku kyeyo e Dubai bamusse

Bi1 703x422

Omugenzi Nsubuga

OMUVUBUKA abadde yaakava ku kyeyo e Dubai attiddwa mu ntiisa, abamusse ne bategeeza nti abadde mubbi. Geoffrey Nsubuga 30, omutuuze w’e Masajja - Ggangu yakubiddwa emiggo n’afa oluvannyuma lw’okugenda mu bbaala okunywa omwenge n’asangayo abaamulabye ne ssente ennyingi ne bamukuba bazimuggyeko.

Poliisi yayitiddwa n’emutaasa kyokka n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago. Kigambibwa nti abaamukubye be baamutaddeko eky’obubbi nga baagala bamubbeko ssente. Poliisi ekutte basatu okuli Ivan Kasule, Justus Nimwegigwa ne Rossette Namweruka era bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Katwe.

Nnyina wa Nsubuga, Muky. Sofia Nakyejwe yategeezezza nti mutabani we baamusse ne bamubbako obukadde 8 ze yabadde nazo mu mpale.

Aduumira poliisi y’e Katwe, Samuel Mission yategeezezza nti abaakwatiddwa bagenda kubuulirizibwako kuba balabika balina kye bamanyi ku kufa kwa Nsubuga.

Bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba CRB1388/2016. Era okunoonyereza bwe kuggwa, baakutwalibwa mu kkooti bannyonnyole n’asaba abantu okwewala effujjo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima