TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Empaka z'aboobubina teziraga bugunjufu - Ntagali

Empaka z'aboobubina teziraga bugunjufu - Ntagali

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2019

Ssaabalabirizi Stanley Ntagali avumiridde empaka z'aboobubina n'agamba nti si za bugunjufu.

Archbishopstanleyntagali 703x422

Ntagali ng'ayogera ku matikkira ga yunivaasite y'e Mukono eya UCU.

Bya       Paddy Nsobya              

 

SSAABALABIRIZI w’Ekkanisa ya Uganda, Stanley Ntagali atikkidde abayizi 397 abamalirizza emisomo mu Yunivaasite y’Obukulisitaayo e Mukono UCU, n'ayongera okuwakanya enteekateeka y’empaka z’obubina “Miss Curvy” egenda mu maaso n’ategeeza nti teziraga mpisa na bugunjufu era zityoboola abakyala abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.

 

Bino yabyogeredde Mukono ku Lwokutaano bwe yabadde ku matikkira g’ettendekero lino ag’e 19. Yagambye nti empaka zino zinaabuula empisa ez’obugunjufu eggwanga kwe lisaanye okwesigama ne yeebaza abavuddeyo okuzivumirira.

 

Ye amyuka Cansala wa yunivaasite eno, Rev. Can. Dr. John Ssenyonyi yasabye abayivu abaamalirizza emisomo obutanyooma mirimu gya ssente entono n’abategeeza nti bw'oba olinnya eddaala otandikira wansi n’ogenda waggulu. "Ne mu by’emirimu otandika na kitono n’ogenda ng'olinnya amadaala."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.