TOP

Omuwalabu abazimbidde essomero

By Ssennabulya Baagalayina

Added 20th March 2019

OMUWALABU omugabirizi w'obuyambi akyadde kuno n'akwasa abatuuze b'e Nkozi mu Mpigi eddwaaliro n'essomero by'abazimbidde.

Buyambi 703x422

Al-Hajji SamiTaufiq Qubaj (akutte omuggo) ng'alambuzibwa ebizimbe by'eddwaaliro eryazimbiddwa e Nkozi.

 

OMUWALABU omugabirizi w'obuyambi akyadde kuno n'akwasa abatuuze b'e Nkozi mu Mpigi eddwaaliro n'essomero by'abazimbidde.

 

Al-Hajji SamiTaufiq Qubaj yaleeteddwa abaana b'eyaliko District  Kadhi wa Masaka omugenzi Sheikh Uzairu Kiruuta abakulirwa Sheikh Badiru Wasajja Kiruuta ne Sheikh Yusufu Kiruuta. 

 

Al-Hajji Qubar yasimbye ejjinja n'omuti ng'atongoza pulojekiti zombi. 

 

Obuyambi abuyisa mu kibiina kya Bakiruuta ekya The Sharia Assembly of Uganda ng'ab'e Nkozi mu ddwaaliro erya Sami Health Centre III yabateereddemu ebyetaago byonna.

 

N'essomero ly'abaana abataliiko mwasirizi y'abasuubizza okubongerako ssente bazigulemu ettaka ly'okulimirako emmere enaabaliisa n'okuyambirako abalala.      

 

Bakiruuta basabye Bannankozi n'emiriraano beeyambise omukisa guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sharifah1 220x290

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi...

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga...

Kasozi 220x290

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA...

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya...

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...