TOP

Abategesi b'ebivvulu bategese emisinde ku lunaku lw'Ameefuga

By Ponsiano Nsimbi

Added 4th September 2019

Abategesi b'ebivvulu bey Musinguzi (Abtex) ne Ssaalongo Andrew Mukasa (Bbajjo) bategese emisinde okuyamba abali mu makomera

Bail4webuse 703x422

Abey Musinguzi (Abtex) ku ddyo, Andrew Mukasa (Bbajjo) ne Matovu Jr. nga beegeyaamu bwe baabadde mulukung'aana lwa Bannamawulire

 

Bya Ponsiano Nsimbi               

ABATEGESI b’ebivvulu okuli: Abey Musinguzi amanyiddwa nga Abtex ne Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo Events bategese emisinde nga October 9, 2019 mu kaweefube gwe baliko okunoonya ssente z’okununula abantu abalemedde mu makomera olw’obusango obutonotono.

Kaweefube ono baamutongolezza mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza ku Muganzirwazza ku Lwokusatu ne bayanjula emijoozi egigenda okwambalwa. Emijoozi gino gyakoleddwa mu langi ez’enjawulo okuli emmyuufu, eya kyenvu, kiragala ne bbululu.

Abtex yategeezezza nti, tebali mu byabufuuzi era tebasuubira muntu yenna kukulembeza byabufuzi mu nteekateeka zino wabula bazze okuyamba Bannayuganda abavundira mu makomera ku misango gy’amabanja amatonotono ng’abatembeeyi abaakwatibwa ekitongole kya KCCA.

 bujoozi obugenda okwambalibwa abaneetaba mu misinde gino Obujoozi obugenda okwambalibwa abaneetaba mu misinde gino

 

Abtex agamba nti, ekirowoozo kino baakifuna abakuumaddembe bwe baakwata Bajjo ku bigambibwa nti yali avvoola omukulembeze w’eggwanga ne bamusibira e Luzira. Eno gye yakizuulira nti si buli musibe ali mu kkomera mutemu oba yazza ogwa nnaggomola.

Baagambye nti kino bazze bakikola naddala mu kkomera ly’e Luzira nga kati basazeewo okukibunyisa eggwanga lyonna nga bayita mu kukoowoola Bannayuganda abalumirirwa bannaabwe okubeegattako nga bayita mu kugula emijoozi gino ku 10,000/-.

Yagiggumizza nti, enteekateeka eno tekwata ku bantu abali ku misango gya nnaggomola oba eminene nga obutemu, okusobya ku baana n’obubbi.

 btex bajjo ne atovu r nga bali nebimu ku biwala ebigenda okwetaba mu misinde Abtex, Bbajjo ne Matovu Jr. nga bali n'ebimu ku biwala ebigenda okwetaba mu misinde

 

Andrew Mukasa owa Bajjo Events yagambye nti omuntu wa ddembe okugula omujoozi mu langi gye yeesimidde. Yayongeddeko nti baamaze dda okulagira bannamateeka baabwe okutalaaga amakkomera mu ggwanga lyonna okumanya omuwendo gw’abasibe abali ku misango emitonotono abeetaaga okuyambibwako.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agambye nti nga poliisi tewali muntu yenna gwe bagaana kudduka mu ngeri ya dduyiro ng’ava mu maka ge era bano baddembe okukikola ssinga tebaayingizeemu byabufuzi.

Ekirala olunaku lw’ameefuga lukyali wala nga poliisi tennaba kutegeezebwako ku nsonga eno naye bo tebagaana muntu adduka bibye nga taliiko gwataataaganya naddala mu nsonga z’ebyokwerinda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...