TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose nga Abtex ne Bajjo banoonyeza Nyakato akalulu

Ttiyaggaasi n’amasasi binyoose nga Abtex ne Bajjo banoonyeza Nyakato akalulu

By Ponsiano Nsimbi

Added 19th September 2019

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango emitonotono bagitutte Hoima. Enteekateeka eno bagitongolezza mu lukung’aana lwa bannamawulire mu kibuga Hoima nga bali wamu ne Muky. Asinansi Nyakato Kamanda avuganya ku ky’omubaka omukazi ow’e Hoima.

Abtexbajjohoima 703x422

Nyakato Kamanda ng'ava ku kabangali ya poliisi

Bya Ponsiano Nsimbi

Abbey Musinguzi owa Abtex promotions ne Andrew Mukasa owa Bajjo Events enjiri y’okununula abasibe abali ku misango emitonotono bagitutte Hoima. Enteekateeka eno bagitongolezza mu lukung’aana lwa bannamawulire mu kibuga Hoima nga bali wamu ne Muky. Asinansi Nyakato Kamanda avuganya ku ky’omubaka omukazi ow’e Hoima.

 bbey usinguzi bitex nabalala nga bawakanya poliisi okukwata yakato e oima Abbey Musinguzi (Abitex) n'abalala nga bawakanya poliisi okukwata Nyakato e Hoima

 

Bano oluvannyuma baatalaaze ekibuga kyonna nga bawerekerwako abawagizi baabwe okwolekera ofiisi ya RDC, Alali Kisembo okumubuuza lwaki yaweze omuntu waabwe okwogerera ku mikutu gya leediyo mu kitundu kino.

 tiya gaasi eyakubiddwa poliisi okugumbulula abantu okuziyiza abakola effujjo Ttiya gaasi eyakubiddwa poliisi okugumbulula abantu okuziyiza abakola effujjo

 

Bano poliisi teyabaganyizza kuyitawo n’ekyaddiridde kuwaanyisiganya bigambo. Abawagizi bano nga bali ne Abtex, Bajjo ne Nyakato baalemeddeko ekyawalirizza poliisi okubakubamu amasasi ne ttiyaggaasi ne babuna emiwabo.

 yakato ku bodaboda Nyakato ku bodaboda

 

Nyakato yakubye poliisi ekimmooni n’abuukira bodaboda era yasibidde mu ofiisi ya RDC.

RDC teyabadde mu ofiisi era amagye ne poliisi byayiiriddwa mu kifo kino okutangira abakola effujjo n’okukakkanya embeera. Oluvannyuma DPC Katumba, Diso Benon Tumusiime, Jackson Wabyona akulira ttiimu ya Nyakato n’abamu ku bawagizi baabwe beevumbye akafubo Diso n’avumirira obuyinza RDC bwe yakozesezza era n’abakkiriza okudda ku leediyo. Eno olwavudde ewa RDC yayaniriziddwa nga muzira ne bakuba n’engoma nga bwe babinuka amasejjere.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...