TOP

Tetuli bamativu ku kusima amafuta

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2019

Ebibiina by'obwannakyewa byennyamivu olw'enteekateeka y'okusima amafuta eyakolebwa obubi

Nakajubicarolynmupinkwakatiyeonismasmugyenyiatekudyoyejamesmuhindowebuse 703x422

Nakajubi Carolyn mu pink wakati ye Onismas mugyenyi ate kudyo ye James Muhindo owa Acode

Bya Peace Navvuga
Ebibiina by’obwannakyewa byennyamidde ku kusima amafuta okubindabinda nga balumiriza gavumenti okukozesa kkampuni ezitalina layisinsi. Bino bibadde ku kitebe kyabwe e Kamwokya ekimu ku byalo ebikola Kampala.
 
Ebibiina by’obwannakyewa nga bikulembeddwaamu James Muhindo okuva mu kibiina kya Acode (Advocate Coalition for Development) basabye Gavumenti ku by’okusasula abantu ku mafuta agagenda okusimibwa essaawa yonna.
aome amara owa Naome Namara owa NEMA

 

 
Gye buvuddeko Gavumenti esomesezza abantu engeri gye bagenda okufuna mu mafuta nga muno mwe muli okusasula abantu abali mu bitundu omugenda okuyita emidumu omugenda okuyita amafuta gano, nga wano ebibiina we bisinzidde ne bitegeeza nga Gavumenti bwetekoze kusomesa bantu kimala.
 
Bagamba nti, gavumenti ebalirira abantu n’ebyabwe kyokka ne batwala ebbanga okubasasula, ng’ate ne bwe basasula babawa ensimbi nga basinziira ku bbanga lye babaliriramu so ng’ate ettaka lirinnya ebbeeyi. 
 
Ekitongole ekivunaanyizibwa okuwa kkampuni olukusa okubalirira abantu n’ebyabwe ekya NEMA kisambazze ebyogeddwa nga bagamba nti, ab’ekitongole ekyakola okubalirira kuno ekya RSK kyakakasibwa era kirina olukusa ng’omwogezi w’ekitongole kino Naomi Namara Karekaho agamba nti, gavumenti tesobola kukozesa kkampuni eterina lukusa.
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...