TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Southern Bypass: Gavt. yaakuliyirira abantu 4,000

Southern Bypass: Gavt. yaakuliyirira abantu 4,000

By Musasi Wa

Added 26th April 2012

OKUZIMBA oluguudo lwa Southern Bypass oba luyite Kampala -Ntebe Express Highway gutandika mu May w’omwaka guno.

2012 4largeimg226 apr 2012 104958670 703x422

Bya HERBERT MUSOKE NE PATRICK TUMWESIGYE

OKUZIMBA oluguudo lwa Southern Bypass oba luyite Kampala -Ntebe Express Highway gutandika mu May w’omwaka guno.

Kkampuni ya Mott Macdonald ye yaweereddwa  ttenda y’okuzimba oluguudo luno.

Luno lwe luguudo olwokubiri olwomulembe okuva ku Northern Bypass olugenda okuzimbibwa mu Uganda, okuva e Busega okutuukira ddala ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe. Ate olulala lujja kuva Kajjansi lutuuke e Munyonyo.

Enguudo zino zaakuyisa emmotoka bbiri buli ludda, ku mabbali baakusimbayo  ebimuli n’emiti ate  mu bitundu awali enguudo eziyising’anya wa\kuzimbibwa amataawo okuziyiza akalippagano k’ebidduka.

Kampala -Ntebe Express Highway lwakubaako kiromita 37. Lwakuyita  Busega, Nsangi, Kabojja A, Nkokonjeru A, Kinaawa, Bandwe, Katale-Bulwadda, Katale-Busawula, Nakigalala-Kifene, Makandwa, Lumuli, Kiryamuli-Kilumba, Wamala, Bukesa, Mpala luggukire e Ntebe.

Ery’okubiri (Kajjansi- Munyonyo Spur lyo lyakubaako kiromita 13. Lwakuyita Kajjansi, Lweza B, Kitiko- Birongo, Mutungo Central, Kigo- Lunya, Ziranumba, Buggu ne Bulungu okutuuka e Munyonyo.

Oluguudo luno lukoleddwa okusobozesa abakungu okutambula obulungi nga tebatawaanyizibwa kalippagano k’ebidduka naddala ku luguudo lw’e Ntebe. 

Enguudo endala ezinaalugattako nazo zaakulongoosebwa.

Omumyuka w’akulira ekitongole ky’ebyenguudo (UNRA), Pamela Ayebare agamba nti oluguudo luno lwakumalawo obukadde bwa doola 320. Ssente zeewoleddwa mu Gavumenti ya China era lwakuggwa mu myaka esatu.

“Tujja kutandikira mu bitundu by’entobazzi kubanga bino bye bisinga obuzibu okuzimbamu oluguudo. Ate bino tujja kubikozesa nnyo okwewala  okutaataaganya abantu n’okukendeeza ssente ezibaliyirira,” bwe yagambye.

Mu bitundu awali enguudo enkadde, wagenda kuzimbibwawo amataawo oluguudo olupya luyitire waggulu ate enkadde ziyite wansi era nga n’enkulungo zigenda kussibwa mu bitundu by’obubuga okusobozesa enguudo eziriwo okusobola okugatta ku luno.

Dr. Achilles Sewaya, omuguku mu by’okunoonyereza  era omusomesa mu Yunivasite e Makerere agamba nti baakukolagana n’aba LC okuyita mu bitundu byonna oluguudo gye lunaayita okulaga abantu engeri gye lugenda okubagasa.

“Waliwo abagenda okufiiirwa ebifo byabwe olw’oluguudo naye kino balina okukigumira,” bwe yagambye.

OKUBALIRIRA:
Omubalirizi w’ekitongole ky’ebyenguudo, Nicholas Ssali agamba nti batandise okuwandiika abantu bonna abali mu bitundu oluguudo luno mwe lugenda okuyita era babaliyirire.

Agamba nti buli muntu wa kuliyirirwa okusinziira ku bintu by’alina ku ttaka lye, okuli ebizimbe, emmere n’emiti.

“Abalina ebibanja baakugabana n’abettaka era singa omuntu abeera n’ekibanja ng’kukolerako, waakufuna ebitundu 60 ku buli 100 ate nnannyini ettaka afune ebitundu 40 ku 100 ebisigaddewo. Kyokka bw’oba n’ekibanja nga tokolerako, nnannyini ttaka y’ajja okufunako ekisinga,” Mw. Ssali bwe yagambye.

Eggulo abantu ab’okuliyirira lwe baatandise okubalibwa. Wiiki eno aba UNRA baakubye olukung’aana e Katale-Bukwenda okusomesa abatuuze omugaso gw’oluguudo luno.

Enkalala eziriko abantu n’emiwendo egigenda okubasasulwa zaakutimbibwa ku ofiisi za LC1 mu bitundu byabwe era nga ettaka lino lyakugenda nga ligulwa mu bitundu okusinziira ku wagenda okukolebwa.

Lameka Sseryazi owa Katuramu & Co. Advocates ababala abantu oluguudo luno mwe lugenda okuyita yagambye nti okusasula omuntu kijja kusinziira ku ttunzi lya poloti yo mu kitundu.

“Bw’oba wazimba nnyumba ya ttegula teyenkanankana na bbaati, bw’eba erimu tayiro tujja kuzibala,” bwe yagambye.
Olw’okutaataaganya abatuuse, buli omu waakufuna engassi eya ‘Disturbance fee’ ya bitundu 30 ku 100 ku ssente ze babaliridde. Bw’oba olinako emmere emopangaazi ojja kusasulwa kinene okusinga oyo alinako ey’ekiyita mu luggya.

Ssente zaakusasulwa mu mitendera esatu; waliwo abanaafuna kaasi (obutasussa mitwalo 20), dulafuti (obutasussa bukadde 20) oba ceeke (nga zisusse ku bukadde 20).

Abakulembeze b’e Wakiso baasabye okuzimba emyala egigenda okutambuza amazzi naddala mu bitundu by’entobazzi okwewala amataba  okutawaanya ab’e Bwaise, Nateete ne Kaleerwe. Omukungu mu UNRA yagambye nti basuubira okuliyirira abantu nga 4,000./

Southern Bypass: Gavt. yaakuliyirira abantu 4,000

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...