TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okuwandiisa ebidduka: Enkola empya eneezuula abaagula mmotoka ez’empewo

Okuwandiisa ebidduka: Enkola empya eneezuula abaagula mmotoka ez’empewo

By Musasi Wa

Added 28th June 2012

EMMOTOKA oba pikipiki gy’olina okakasa yiyo? Olowooza nti olw’okuba olina kkaadi yaayo, oba ogivuga buli lunaku nti kye kigifuula eyiyo?

2012 6largeimg228 jun 2012 100838560 703x422

Bya DICKSON KULUMBA

EMMOTOKA oba pikipiki gy’olina okakasa yiyo? Olowooza nti olw’okuba olina kkaadi yaayo, oba ogivuga buli lunaku nti kye kigifuula eyiyo?

Okimanyi nti ekidduka kyo muyinza okuba mukirinako obwannannyini abantu abasoba mu basatu, nga buli omu alina kkaadi yaakyo ‘entuufu’ n’ennamba y’emu kwe kyawandiikirwa?

Ye mmotoka yo erina ebisumuluzo bimeka? Eriyo emmotoka gye bakola ng’erina ekisumuluzo kimu nga ggwe kye baakuwa? Emmotoka ejjirako ebisumuluzo bisatu, bw’oba olina kimu oyinza okuba ng’ovuga nzibe!

Ababbi batutte ebidduka bya bannaabwe mu ngeri eno, y’ensonga lwaki ekitongole kya URA kireese enkola y’okuddamu okuwandiisa ebidduka byonna mu ggwanga.

Omukungu wa URA, alondoola okusasula emisolo n’okuwandiisa ebidduka, Mw. Garry Kizito agamba: Enkola ereeteddwa eyitibwa “eTAX Motor Vehicle Registration System” era yaakuwandiisa ebidduka byonna ebiyingira mu ggwanga ka bibe bipya oba bikadde.

Enkola empya yakwanguyiza abakyusa obwannannyini bw’emmotoka, okufuna nnamba y’emmotoka endala singa gy’olina egwa; bw’oba oyagala okuyingiza oba okufulumya emmotoka mu ggwanga n’okukyusa ebikwata ku mmotoka yo nga langi, ekika ky’amafuta n’ebirala.

 

ENKOLA EMPYA EKOLA ETYA?

Buli alina ekidduka n’asuubira okuyingiza ekidduka mu ggwanga, enkola eno ekukwatako. 

Ekidduka kyo bw’oba wakiwandiisa dda bw’onooba ogenda okuddamu okukiwandiisa okuva nga July 1 olina okuba n’ennamba kw’osasulira omusolo olwo bakuwe ennamba (TIN) empya. 

Bw’oba funa TIN empya, URA ejja kukuweerako ennamba ekusobozesa okuyingira mu yintaneeti ya URA omalirize okuwandiisa ekidduka kyo.

Beetaaga 

l Ennamba y’emmotoka

lEnnamba ya yingini

lChasis nnamba

lMmotoka etuuza abantu bameka?

lOmwaka mwe yakolebwa

lEkika ky’emmotoka ne modulo yaayo

lEnywa mafuta kika ki?

lLangi y’emmotoka

Bw’omala okuweereza ebikwata ku kidduka kyo, ojja kufuna lisiiti, olwo URA ebinoonyerezeeko okuzuula oba bituufu. Bwe wanaabaawo ekibulako olwo baakukuyita n’ekidduka kyo bongere okukyetegereza.

Abasuubuzi n’abantu abalala abayingiza emmotoka mu ggwanga babateereddewo ba ajenti ab’enjawulo okuziwandiisa nga zituuse ku nsalo.

 

Obubbi bwa mmotoka

Wabula abalina mmotoka bangi beeraliikiridde nti okuwandiisa ebidduka kamu ku bukodyo obuleeteddwa okubba mmotoka z’abantu.

“Abagaba kkaadi ne nnamba puleeti ez’ebicupuli bakolagana n’abali mu URA, kinaaba kitya nga bategedde byonna ebikwata ku mmotoka zaffe nga bwe kigenda okubeera,” John Lukenge ow’e Namasuba bwe yabuuzizza.

Wabula Mw. Kizito agamba nti emmotoka ezirina kkaadi ne nnamba puleeti ez’ebicupuli kati nnyingi era enkola eno ejja kukikendeezaako. Emmotoka ezimu zirina ennamba ezisukka mu emu, oli n’aba n’emmotoka ng’amanyi agirina omu sso nga waliwo  omulala avugira ku nnamba ye.

Mu nkola empya kyakutwala olunaku lumu okuwandiisa mmotoka sso nga si bwe kibadde.

Ekitongole kya URA kyakussaawo omukutu gy’onoogendanga n’osooka onoonya ku mmotoka gye bagenda okukuguza n’omanya nnannyini yo. Kino kigenda kukendeeza nnyo obubbi bwa mmotoka n’abaguza empewo.

Mw. Myra Ochwo, avunaanyizibwa ku byabizinensi mu URA yagambtye nti okuwandiisa ekidduka kyo kwa bwereere, naye nga buli omu agenda kuweebwa akatabo akatuufu. Alina akatabo ak’ekicupuli poliisi yaakumulondoola, ezuule eyakamuwa.

Bw’oba wagula mmotoka n’olemwa okukyusa obwannannyini ate nga tewategeeza URA, ojja kusooka kusasula .

Okuwandiisa ebidduka kwakumala omwaka gumu okutuuka nga June 30, 2013. Bw’onoogaana okuwandiisa mmotoka kijja kukubeerera kizibu okugitunda.

Okuwandiisa ebidduka: Enkola empya eneezuula abaagula mmotoka ez’empewo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala