TOP

Ani asinza emmotoka enkadde mu Uganda?

By Musasi Wa

Added 12th July 2012

BW’OTUNUULIRA mmotoka enkadde n’ozigeraageranya n’empya weebuuza ekigendererwa ky’abakola mmotoka ensangi zino!

2012 7largeimg212 jul 2012 113419463 703x422

Bya HERBERT MUSOKE

BW’OTUNUULIRA mmotoka enkadde n’ozigeraageranya n’empya weebuuza ekigendererwa ky’abakola mmotoka ensangi zino!
Kwata ku bbaati lyayo owulire obugumu, ddala singa otomeragana n’emmotoka enkadde ezaafuluma okuva mu myaka gya 1960 okutuuka mu gya 1990 mmotoka yo ey’obutitimbe bwa ssente modo ya 2000 evaamu etya?

Ye ggwe agivuga oyinza okuwomawo? Omwezi oguwedde kkampuni ya Vintage yategese empaka za mmotoka enkadde ku Shelaton Hotel mu Kampala.

Mmotoka ya Chipper Adams ekika kya Ford 1924 ye yawangudde bwe yazuuliddwa nti y’emmotoka esinga obukadde mu Uganda. Mmotoka ezaaliwo mu myaka egyo kuliko Mercedes Benz, Ford, Triumpher, Angalia, Renault, Toyota,
Honda, Stout, Morris, Fiat, Mirafi ori, Alpha Romeo n’endala kyokka nga obuwangaazi bwazo tosobola kubugeraageranya na mmotoka zaffe eziriwo nga Harrier, Prado, Progres n’endala ezikolebwa mu mabaali amawewufu okuzisobozesa okuwenyuka.
Ani alina mmotoka esinga obukadde kyokka ng’ekyasobola okutambula ku luguudo?

VOLVO 1950:
Omugenzi William Muinda eyali ow’e Lubaga amaze nayo emyaka egisobamu 40! Naye kati erabirirwa ab’amaka ge okuli Charles Lwegaba.

Yagigula mu 1965 ku nnamba UYQ 588, kyokka kati eri ku UAA 450C. Lwegaba agamba nti Muinda yali mukozi mu minisitule y’ebyamawulire n’ebiweerezebwa ku mpewo wamu n’ebyobulambuzi era yagula mmotoka eno ku kibanjampola. Yagitambuzanga okukuba ebifaananyi mu ggwanga lyonna.

Agamba nti mmotoka eno modo 1225, yakolebwa mu Sweden, yagigula mu kkampuni ya Gian Motors eyali esangibwa ku Jinja Road, nga ttanka ya mmotoka eno ejjula liita 30.

Agamba nti mu Uganda mulimu makanika wa Volvo omu amanyiddwa nga Mulindwa, akanikira e Makerere. Mmotoka eno ekyakuumibwa famire ya Muinda, ekyali mu mbeera nnungi ddala, esobola okudduka okutuuka ku sipiidi 100.

MORRIS MINOR
George Muwonge, alina mmotoka ekika kya Morris Minor gye yagula mu 1959. Mmotoka eno nayo eri mu mbeera nungi era nga ekyatambula.

Mmotoka zino enkadde ezisinga bannannyini zo bazivugamu bwa lumu okuzibugumya yingini zaazo. Zirina yingini nnene kyokka nga zinywa kitono era tezidduka nnyo nga mpya.

Endabirwamu z’amadirisa gaazo gaalinga ga kuseesa na ngalo, teziriimu waya nnyingi kubanga ebintu byazo ebisinga obungi bikolebwa ddereeva okusinga empya ezirimu waya ennyingi anti ebisinga mu mmotoka zino bikolerwa otomatiki.

Mmotoka zino abasinga bazikuuma nga kijjukizo. Aa famire ya Muinda balina ekirowoozo kya tutwala mmotoka zino mu materekero g’ebyafaayo zikuumirwe eyo n’abaana abalijja basobole okuzisanga.

Bamakanika ba Kings Garage e Namuwongo baliko mmotoka ekika kya Volkswogen (Wogani), eya 1970 gye bazzizza obuggya era nga bagamba nti yabamazeeko 4,000,000/- okugizza mu mbeera gy’erimu kati.

Mw. Ben A. Khingi akulira bamakanika mu galagi eno agamba nti balina ekigendererwa ky’okuzza obuggya mmotoka enkadde okusobozesa abaana abalijja okuzisanga nabo basobole okuzirabako.

Agamba nti mmotoka enkadde kati ntono nnyo era nga kyetaagisa okubaawo ekikolebwa okusobola okukuuma mmotoka zino.

Morris Minor ya George Muwonge eyakolebwa mu 1959.

Volvo ya Muinda eyakolebwa mu 1950.

Wogani aba King’s Garage gye bazzizza obuggya. Ya 1970.

Ani asinza emmotoka enkadde mu Uganda?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage

Mick 220x290

Mutabani wa Michael Schumacher...

Mick mu kiseera kino avugira mu Formula Three nga yaakawangula empaka za mirundi 6 ku 10

Masazaweb 220x290

Ab'amasaza beegaanyi okulera ttiimu...

Abaddukanya amasaza beegaanyi ebigambibwa nti balina ttiimu ze balera nga baagala zituuke ku fayinolo

Ramos 220x290

Ramos amenye likodi ya kaadi za...

Ramos amenyewo Paul Scholes mu bazannyi abakyasinze okufuna kaadi za kyenvy mu Champions League.

Wright 220x290

Eyali omuteebi wa Arsenal asanyukidde...

Gazidis abadde akonyezza ttiimu n'adda ne mu kati ne yeewogoma.