TOP

EBIBUUZO KU BIDDUKA

By Musasi Wa

Added 27th September 2012

Lwaki makanika wa mmotoka takanika pikipiki?

2012 9largeimg227 sep 2012 084406157 703x422

EBIBUUZO KU BIDDUKA


Lwaki makanika wa mmotoka takanika pikipiki? Baguma Fort Portal (0782669039)

Bamakanika bano baba banjawulo, era ne bwe kuba kusoma basoma ebintu bya njawulo, naye waliwo abasobola okuyiga byombi naddala abo abayigira mu galagi asobola okuba nga yasooka kukanika pikipiki n'oluvannyuma n'adda ku mmotoka.

Lwaki mmotoka yange Corona 190 otomatiki esimbula nnafu nnyo, yafa ki? (0782575655) e Masindi.

Kisoboka okuba nga erina sswiiki enfu, bwe kitaba ekyo nga nnamba emu bukulaaci bwayo bwaggwaako, ng'esimbulira mu nnamba bbiri ennafu.

Lwaki mmotoka mu kyalo bazooka kuziyiwamu mafuta, ate ne bagatta waya okwaka? Tekirina bulabe ku abazitambuliramu? (0773732705) e Gayaza.

Mmotoka ezo ziba za kabyuleeta, kyokka nga yafa tekyasobola kukuuma mafuta ky’ova olaba nga baziteekamu amafuta mu maaso.

Okugatta waya kitegeeza nti sswiiki egikoleeza ng’okozesa ekisumuluzo nayo yafa.

Kisobola okuba eky'obulabe kuba eyinza okugatta waya ng'ovuga mmotoka n'ekwata omuliro.

Mmotoka yange yagwa mu mwala n’emalamu ennaku bbiri, naye ng’enda okugigyamu nga yonna ekaaba. Nkole ntya? Otyeno e Kapochorwa (0755533051)

Amazzi gaagikulukutiramu yonna ne gaginaazaamu giriisi ky’eva ekaaba. Sooka ogitwale ku lupiira bagyoze yonna n’oluvannyuma ogitwale bagikube sipule ne giriisi ejja kutereera.

Eggaali eziriko yingini zikyaliyo? Ye bagitunda mmeka? Rugigano e Ngoma (0754098816)

Obugaali obwo bukyaliyo, naye bbeeyi yaabwo esinziira ku kika n’amaanyi ga yingini gy’oba oyagala, naye buli wakati w’emitwalo 70 n’akakadde.


IPSUM yange ebadde ekutula nnyo Z, naye makanika yaziggyamu zombie n'omutayimbwa gw'omu maaso n’esigalirawo. Tekirina buzibu? Rashid e Kigali (0772618117)

Emmotoka ejja kuba tekyatereera bulungi ku kkubo, olwo ng'ovuga pembeeni oba okugwa akataka kiba kyangu mmotoka okugwa ekigwo.

Nina mmotoka yange 190, naye waggulu ku kisaanikira kya yingini okubeera pulaaga yatandika okufulumya woyiro mu misumaali ena? Kiva ku ki? Lubwama e Namugongo (0772494420)

Munda w'emisumaali egyo gy'oyogerako waliyo ssiiru ezikwata woyiro obutagenda mu pulaaga. Ssiiru ezo zaakakanyala, tezikyakwata woyiro ky’ova olaba ng'afulumira mu misumaali.

Mmotoka Premio bwe mba nvuga yeekwata ate n'eta. Kiva ku ki? (0771864263)

Mmotoka yeetaaga okukebera pulaaga, waya za 'High Tension Cable' okwo kw’ossa ne sensa zaayo kwandiba nga kwe kuli obuzibu obuvaako mmotoka yo okwesiba.

Biddiddwaamu; Titus Muteesasira owa Good Way Auto Garage e Mulago ku lw’e Gayaza. Alina ekibuuzo kiweereze ku 0782006608 oba kuba 0752/0776698576

 

EBIBUUZO KU BIDDUKA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako