TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Nguzi ya poliisi ye yeekalakaasisa aba bbaasi oba kipande ekipya eky’obudde?

Nguzi ya poliisi ye yeekalakaasisa aba bbaasi oba kipande ekipya eky’obudde?

By Musasi Wa

Added 27th September 2012

OLUVANNYUMA lwa bbaasi ya Horizon okukola akabenje e Lwengo wiiki ewedde n’etta abasaabaze 17, bbaasi zonna zaalagiddwa okuba ne ‘Route Chart’,

2012 9largeimg227 sep 2012 084942520 703x422

Bya DICKSON KULUMBA
OLUVANNYUMA lwa bbaasi ya Horizon okukola akabenje e Lwengo wiiki ewedde n’etta abasaabaze 17, bbaasi zonna zaalagiddwa okuba ne ‘Route Chart’, ekipande ekiraga entambula zaazo n’obudde kwe zitambulira.

Ekigendererwa kwe kukendeeza ku sipiidi bbaasi kwe zivugirwa nga buli mugoba ayanguwa adde atikke ekivaako obubenje.

Wabula baddereeva ba bbaasi beekalakaasizza nga bagamba nti ekipande kino kivuddeko ebizibu bingi omuli n’okufiirwa ssente ezitagambika.

Omu ku baddereeva mu kkampuni ya Honest yategezezza nti balina bbaasi nnya. Ekipande kyabwe (Route Chart) kiraga nti bbaasi esooka erina okuva mu ppaaka ku ssaawa 2:30 ku makya, e Mbarara etuukayo ku 7:00; eyookubiri esimbula ssaawa 4:00 ku makya n’etuuka e Mbarara ku ssaawa 9:30.

Zino zisobola okugenda ne zidda e Kampala, naye ebbiri ezisigaddewo zivuga
luutu emu.

Wabula bwe kyatuuse okutuukiriza obudde obulagibwa ku kipande olwo obuzibu ne bujja.

Poliisi obwedda ekwata buli ddereeva asangibwa nga bbaasi ye etambudde mu budde obutalagiddwa ku kipande era bangi baabaggalidde mu kaduukulu!

Joel Ssekidde, maneja wa Teso Coach yategeezezza nti baddereeva be bana be baakakwatibwa ne baggalirwa e Mukono.

“Abasaabaze baabayiwa mu ngeri efi iriza, bwe nagenze okubaggyayo ku poliisi ne mpeebwa ekipapula ky’akakalu ka poliisi (police bond) ekyandibadde eky’obwereere kyokka nga ndi wa kusasula 900,000/-,” Ssekidde bwe yagambye.

 

ROUTE CHART KYEKI?

Kino kye kipande ekiraga enteekateeka n'entambula bbaasi gy’eneegoberera okusaabaza abantu.

Kiraga obudde bbaasi kw’erina okuviira mu ppaaka e Kampala okutuuka gy’eraga.
Tteeka ddereeva alina okuba ne kkopi yaakyo buli lw’atambula.

Mu kino, omuserikale w'ebidduka atunula ku kiwandiiko kino bbaasi kw’etambulira okukuvunaana oba okukuleka.
Bw’ovuga sipiidi n'okutuuka mu kifo w’otasubirwa obudde obwo okwatibwa, bw’ogenda empola ka kibe nti osanze kalippagano n’otuuka ekikeerezi era otanzibwa!

Sam Mwesigwa, maneja wa Kampala Hopa Services, agamba nti bbaasi gy’avuga UAR 505C ku Mbale- Namutumba erina okuva e Mbale ku ssaawa ku 1;00 ku
makya, esuubirwa okutuuka e Namutumba ku ssaawa bbiri, Busembatya bbiri kitundu, Iganga ssatu kitundu, Jinja nnya kitundu, olwo etuuke e Kampala ku ssaawa mukaaga n'ekitundu.

Bbaasi y’emu erina okuva e Kampala ku ssaawa kkumi, etuuke e Jinja kkumi n'emu kitundu, Iganga, ssaawa kkumi nabbiri n'eddakiika 45, Busembatya ssaawa emu n'eddakiika 45, Namutumba ssaawa bbiri n'eddakiika 45, Mbale ssaawa nnya ez'ekkiro nga terina w’ewumudde!

Ssentebe wa baddereeva ba bbaasi mu ggwanga Yunusu Kiggundu, yagambye nti enkola eno yassiddwaawo Gavumenti nga tesoose kwekenneenya bintu ebiyinza okugigaana okutuukirizibwa. Ebimu ku bintu bino byayogerako kuliko:

Akalippagano k'ebidduka, okugeza kitwalira bbaasi essaawa ssatu okuva e Kampala okuyita e Mukono, n'olwekyo w’otuukirayo bakukwata bukwasi.

Mu kiseera kino enkuba etonnya mu bitundu ng'ebyobukiika kkono, entindo zagwamu dda okugeza olwa Awoja oludda e Pakwach.

Enguudo ez'enjawulo ziddaabirizibwa okugeza e Bwaise olina kuyita Kaleerwe, eno ejjudde akalippagano n'ebizibu ebirala.

Kirungi nti Gavumenti yaddukanyaako ebyentambula era yalaba ebizibu bingi ebirimu. Mu ndowooza y’emu, yandibadde ekolagana naffe okutereeza.

EMISOSO MINGI Bbaasi nga tennasimbula mu ppaaka yeetaaga 1,200,000/- ez’amafuta n’emisoso gya ppaaka okuli akuuma ku mulyango, bbulooka (65,000/-) n’ez’okutikka mu ppaaka (50,000/-).

Gavumenti ekkiriza kkampuni ya City Tyre yokka okuleeta emipiira gya bbaasi, naye ogumu guli 1,800,000/-. Bw’otogugula ojja kugula ekicupuli ogwa 600,000/- egivaako obubenje.

Kale bw’otuusa bbaasi e Mukono oba awalala omuserikale n’akulagira okudda e Kampala aba akufi irizza nnyo. Ye Gavumenti ebeera wa ng’emipiira egy’ebicupuli giyingizibwa mu ggwanga?

Edda layisinsi y'oku luguudo yasasulwanga nga bbaasi emaze kwekebejjebwa e Naggulu yekebejjebwa, kyokka enkola eno tekyaliwo!

Ekitongole ky'abalambuzi b'ebidduka ( IOV) kyali kikola bulungi, era emmotoka ne bwe yafunanga akabenje nga beekenneenya mmotoka yonna, wabula ekiriiwo kati abapoliisi bakola bukozi lipoota nti ekyaleese akabenje kuvugisa kimama ng'ate amazima gali nti tebalina bukugu bumala okwekenneenya bbaasi.

Okuva UTC ne bbaasi za Peoples' lwe baaziggyawo mu 1993, tewali we batendekera baddereeva ba bbaasi, olwo osuubira ki?

Ddereeva bamuggya ku takisi Kampala- Kasubi, ajje avuge bbaasi edda
e Lira!

Bannannyini bbaasi okusasula baddereeva ssente entono nakyo kibi. Okugeza mu Horizon ddereeva afuna 120,000/- omwezi; Felister basasula 500,000/-; Teso Coach basasula wakati w’emitwalo 15 ne 20; ate endala ziri wakati wa 300,000/- ne 400,000/- sso abamu babasasula kasiimo!

 

Nguzi ya poliisi ye yeekalakaasisa aba bbaasi oba kipande ekipya eky’obudde?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?