TOP

Ttipa, emmotoka enkozi ya ssente

By Musasi Wa

Added 27th September 2012

EMMOTOKA yonna eriko akatanda akayiwa y’eyitibwa ttipa! Muno mulimu Isuzu Magulukkumi, Fuso Foward (soma Fowadi) oba bu Isuzu Elf n’endala.

2012 9largeimg227 sep 2012 091814930 703x422

Bya BONITAH KIBALAMA
EMMOTOKA yonna eriko akatanda akayiwa y’eyitibwa ttipa! Muno mulimu Isuzu Magulukkumi, Fuso Foward (soma Fowadi) oba bu Isuzu Elf n’endala.

Wabula okimanyi nti zino ze zimu ku mmotoka ezisinga okukola ssente?  Ze zisomba ebizimbisibwa, omusenyu, okusengula abantu n’emirimu njolo.

Emmotoka zino eyinza okukukolera ssente eziri wakati w’emitwalo 15 ne 25 olunaku, naddala singa sizoni ebaako. Omukugu mu mmotoka enkozi, George Mpanga owa Namun’goona Motor Garage annyonnyola ttipa: Ttipa za bika bisatu.

Mulimu Magulukkumi; ng’eno erinamu Fuso, Isuzu ne Nissan.

Fowadi: Eno y’eddirira Magulukkumi ate nayo erimu ebika nga Magnon, Juston, Fuso, ne forward.

Elf Isuzu: Eno y’esinga obutono ng'erimu Canter, ne Elf Isuzu.

Mu Uganda tusinga kufuna ttipa eza modulo 1987 ne 1990 . Modulo enkadde nnungi nnyo kuba zikekkereza amafuta naye bw’oba olina modulo 2000 olina kugiwa mafuta agataliimu kujingirira.

ENNYINGIZA YAAYO:
Bw’oba oyagala okufuna mu ttipa, sooka ogirabirire bulungi. Eno mmotoka teremwa, ekola emirimu mingi ng’oggyeeko okwetikka omusenyu.

Esomba ettaka, okwetikka emitayimbwa, emmere era ensangi zino abalimi bagyettanidde.

Ttipa esasulibwa okusinziira ku buwanvu bw'olugendo, essaawa n'obuzito bw’ebintu by’egenda okwetikka.

Bw’ogipangisa olunaku lulamba osasulira mu ssaawa, buli ssaawa eri wakati wa 25,000/- ne 30,000/-.

Ttipa ezirina emitayimbwa zikozesebwa nnyo ab’amasomero era bayinza okukupangisa wakati wa 250,000/- ne 300,000/-.

ENDABIRIRA
Nzudde nga baddereeva baagala nnyo nazo okuzivuga endiima, olwo kimanye nti ebadde ey’okukola emyaka 5 ekola esatu gyokka!

Buli luvannyuma lwa kiromita 700 kola saaviisi; lekamu amafuta ga lizaavu buli kadde, kigiyamba okukuuma yingini.
Kyabulabe okuzikirizaawo ttipa, olw’okuba yeetikka bizito nga ne puleesa yamaanyi, bw’opapa okuzikiza ojja kwonoona yingini.

Nga tonnasimbula, ttipa yonna sooka ogikube ekisumuluzo naye tolinnya ku muliro okumala akabanga. Kiyamba woyiro abadde yasse wansi okusaasaana.
Yisaawo waakiri eddakiika 10.

Ttipa ng'oyagala ogiwangaaze, ky’olina okusooka okwewala kwe kumala ganywa woyiro buli w’osanze. Kirungi eri ddereeva yenna okubaako awantu w’agula woyiro nga takyusakyusa masundiro.

Okukakasa nti buli kadde emmotoka erimu amazzi kigiyamba okubeera nga nnamu bulungi.

SIPEEYA WAAZO:
Sipeeya waazo aseerebwa nnyo era kiba kirungi omuntu okugivuga ng’agyegendereza okugeza:
 Omupiira omulungi guli ku 500,000/-
 Yingini bw’ogyonoona empya etandikira ku 3,500,000/ sente eziba enzibu okufuna.
 Obutaala oluusi bw'onooneka mangu ate bwe batuguza obusinga bwa bicupuli.

EBIZOONOONA:
Enkuba etesalako etera okwonoona bbaatule zaazo naddala ezo eziva e Kenya.
Amakubo amabi, okumala ganywa woyiro n’okuvugisa ekimama kizoonoona nnyo.

EBIBI BYAZO:
Ttipa ziseerera nnyo, zikozesa amafuta mangi ate ziri ku buseere. Ttipa ezimu zitandikira mu bukadde 80 okutuuka ku 150 okusinziira gy’ogiguze
 

Ttipa, emmotoka enkozi ya ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa