TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Baasi za KKT zikiriziddwa okuddamu okusaabaza abantu

Baasi za KKT zikiriziddwa okuddamu okusaabaza abantu

By Musasi Wa

Added 5th December 2012

BADDEREEVA 10 aba kkampuni ya Baasi eya KK Traveler, baakuddamu okugezesebwa oluvannyuma lw’okugwa okugezesebwa okwasoose.

2012 12largeimg205 dec 2012 163141000 703x422

BYA HERBERT MUSOKE


BADDEREEVA 10 aba kkampuni ya Baasi eya KK Traveler, baakuddamu okugezesebwa oluvannyuma lw’okugwa okugezesebwa okwasoose.

Patrick Alioni omwagezi wa kkampuni ya KK Traveler yagambye nti ku baddereeva 26 be babalina , 16 bokka beebaayise ebigezo bya poliisi y’ebidduka e Nagulu.

Bbaasi za kkampuni eno zaayimirizibwa nga November, 17,2012 oluvannyuma lwa baasi yaayo okukola akabenje mu disitulikiti y’e Koboko bwe yatomera enjovu n’etta 10 n’abalala 40 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Nga bbaasi za kkampuni eno tezinakkirizibwa kuddamu kukola, ba ddereeva bonna baasoose okuddamu okugezesebwa kyokka 10, bagwa.
Kharim Kibuuka, akulira eby’okugezesa ba ddereeva yagambye nti ba ddereeva abaagudde nga tebanakkirizibwa okuddamu kuvuga bbaasi yonna balina okuddamu okugezesebwa.

Akulira ekitongole kya poliisi y’ebidduka, Steven Kasiima, gye buvuddeko yagamba nti poliisi egenda kutandika okusaza mu pamiti za ba ddereeva abavaako obubenje obw’amaanyi.

Afande Kasiima yategeezza nti poliisi ng’ekolagana n’ekitongole ekigezesa ba ddereeva n’ebidduka baakuddamu okugezesa ba ddereeva ba kkampuni ya KKT naddala abo abakoze obubenje.

Mu ngeri y’emu Mw. Kasiima agamba nti bagenda kukola ebikweekweeto wamu n’okusala amagezi okulaba ng’obubenje tebubeera ku nguudo naddala mu biseera by’ennaku enkulu bino ebisemberedde.

Baasi za KKT zikiriziddwa okuddamu okusaabaza abantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda