TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obumenyi bw’amateeka bweyongedde ku nnyanja Nalubaale

Obumenyi bw’amateeka bweyongedde ku nnyanja Nalubaale

By Musasi Wa

Added 18th February 2013

Gavumenti egezaako okussa mu nkola amateeka agafuga ennyanja Nalubaale agaayisibwa mu 2007 wakati mu mawanga agagibana, naye obumenyi bw’amateeka naddala okutikka akabindo n’okukozesa amaato agatatuukana na mutindo gwetaagisa byeyongedde obungi.

2013 2largeimg218 feb 2013 153044343 703x422

Bya Samuel Balagadde

Gavumenti egezaako okussa mu nkola amateeka agafuga ennyanja Nalubaale agaayisibwa mu 2007 wakati  mu mawanga agagibana, naye  obumenyi bw’amateeka  naddala okutikka   akabindo n’okukozesa amaato agatatuukana na mutindo  gwetaagisa byeyongedde obungi.

Bangi ku basaabalira ku nnyanja Nalubaale bafiira mu bubenje ng’obusinga busibuka ku kutikka kabindo, amaato abatali ku mutindo, abagoba ab’ekibogwe  n’abagavuga nga batamidde.

Abasaabaze abasinga abasaabalira ku nnyanja tebambala mipiira giziiyiza kubbira. Bernard Khabakha, omukugu mu kwekebejja amaato mu Minisitule y’ebyenguudo n’entambula agamba nti  wadde nga bbanka y’ensi yonna egezezzaako okuddukirira eby’entambula ku mazzi nga bassaawo ofiisi entongole evunaanyizibwa ku bikwata ku ntambula ku nnyanja.

Yagambye nti  amaato gonna omuli ageeyambisibwa mu kuvuba ,okusaabaza abantu n’ago agasaabaza ebyamaguzi galina okuba nga  gatuukiriza ebisaanyizo  omuli okuba nga gali  mu mbeera egakkirizisa okutambulira ku nnyanja.

“Atambulira ku nnyanja alina okulaba nga  tatikkibwa kabindo,  okwambala omupiira  n’okunywa mwenge,” bnw’agamba.


Obumenyi bw’amateeka bweyongedde ku nnyanja Nalubaale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thumbnailkabongengomupiiraagulabiraeberuwekisaawe 220x290

Omutendesi Kabonge awanduse mu...

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa...

Thumbnailabazannyibacityoilersngabafaessanyulyekikopoekyomusanvu2 220x290

Aba City Oilers 2 batambulira...

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo...

Genda 220x290

Abadiventi beebugira lukung'aana...

Ensi 13 ze zisuubirwa okwetaba mu lukungaana lw'aba Advent olutuumiddwa Kampala 2020 Mission Extravaganza Festival...

Sit16 220x290

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza...

Eyali yagongobala ateredde n'asuubiza okuddayo okusoma

Siminyu703422 220x290

Ab'ekitongole ekigaba paasipooti...

KAMISONA Brig. Johnson Amanya avunaanyizibwa ku Paasipooti n’okulondoola abasaba obutuuze, yategeezezza Bukedde...