TOP
 • Home
 • Emboozi
 • Amateeka g’ebidduka amakakali gafulumye

Amateeka g’ebidduka amakakali gafulumye

By Musasi Wa

Added 16th May 2013

MINISITULE y’ebyenguudo n’ebyentambula akoze ennongoosereza mu tteeka erifuga ebidduka n’obutebenkevu ku nguudo erya 1998 n’eyingizaamu ebibonero ebiggya ku bumenyi bw’amateeka g’ebidduka obw’enjawulo.

2013 5largeimg216 may 2013 092840307 703x422

 

 

 

 

Bya MUSASI WAFFE

MINISITULE y’ebyenguudo n’ebyentambula akoze ennongoosereza mu tteeka erifuga ebidduka n’obutebenkevu ku nguudo erya 1998 n’eyingizaamu ebibonero ebiggya ku bumenyi bw’amateeka g’ebidduka obw’enjawulo.

Agamu ku mateeka gano n’ebibonerezo bisigaddeyo nga bwebibadde wabula ebirala ne byongezebwa n’okussaawo ebipya ebitabaddeewo.

Kamisona poliisi avunaanyizibwa ku bidduka n’obutebenkevu ku nguudo, Stephen Kasiima yagambye nti bino byonna bikoleddwa okwongera okukendeeza obubenje nga busibuka ku nsobi ezikolebwa abantu ezaabulijjo.

Wabula Kasiima yagambye nti baabadde balina okutandika okukwasisa amateeka gano nga May 15, 2013 wabula bakyalinze bitabo bya lisiiti z’akagwiriwo okuva mu kitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya URA.

Mu bimu ku bibonerezo mulimu

 1. Okuvuga mmotoka okutali yinsuwa kwa 40,000/- wabula ngazino tezaalinyisiddwa.
 2. Okuvuga mmotoka nga nnamba ppuleeti terabika bulungi kwa 40,000/- nazo tezaalinyisiddwa
 3. Okuvuga mmotoka nga tolina pamiti otanzibwa 100,000/- nga kuvudde ku 40,000/-, pamiti nga yaggwaako kuvudde ku 60,000/- ne kudda ku 100,000/-.
 4. Okutikka mmotoka akabindo ne mu ngeri y’obulabe eri abeyambisa ekkubo abalala evudde ku 40,000/- n’edda ku 200,000/-.
 5. Okukozesa mmotoka y’emigugu okusaabaza abantu nga tolina layisinsi kuvudde ku 40,000/- ne kudda ku 100,000/-.
 6. Okukozesa obubi ekidduka okuva ku mirimu gye kyaweebwa layisensi gy’erina kuvudde ku 60,000/- ne kudda ku 200,000/-
 7. Okuvuga mmotoka eri mu mbeera mbi kuvudde ku 50,000/- ne kudda ku 60,0000/-.
 8. Okuvuga mmotoka ng’otamidde tekubadde na ngassi ntongole nga kati kwasiddwaako 200,000/-
 9. Okukozesa obubi ekidduka kuvudde ku 40,000/- ne kudda ku 100,000/-
 10. Okuvuga endiima kuvudde ku 100,000/- ne kudda ku 200,000/-.
 11. Okugaana okuyimirira ng’okuyita ku ggaali y’omukka weesalira kuvudde ku 40,000/- ne kudda ku 50,000/-
 12. Okutikka omusaabaze asukka mw’omu ku bodaboda oba ku pikipiki yonna kutuuse ku 100,000/-.
 13. Okuziba ekkubo ng’otikka abasaabaze oba okutikkula ebyamaguzi otanzibwa 100,000/-.
 14. Okuvuga pikipiki nga tolina pamiti kwa 40,000/-.
 15. Okuvuga pikipiki nga tolina kikoofiira 40,000/-
 16. Okuvuga mmotoka nga tosibye lukoba 80,000/-.
 17. Omusaabaze okutambulira mu kidduka kyonna n’osangiwa nga tosibye lukoba engassi ya 20,000/-.
 18. Okwogerera ku ssimu ng’ovuga mmotoka kussiddwa ku 100,000/-.
 19. Okuvuga mmotoka erina okubaako obubaati obumasamasa emabega (reflectors) wabula nga tebuliiko kwa 100,000/-.
 20. Okuvuga mmotoka esaabaza abantu nga tolina bbaagi ne satifikeeti 200,000/-. Okuyigiriza okuvuga mmotoka nga tolina bisaanyizo engassi ya 200,000/-.

 

Amateeka g’ebidduka amakakali gafulumye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap13 220x290

Omujaasi abadde atambuliza emmundu...

Omujaasi abadde atambuliza emmundu mu kidomola bamukutte ku by'okutta aba Mobile money

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...