TOP

Loole ekozesebwa ne mu wolodingi yiino

By Musasi Wa

Added 21st November 2013

MMOTOKA gy’olina ogikozesa mirimu ki ng’oggyeeko okugivuga ng’oliko gy’olaga n’okutikka ebintu?

2013 11largeimg221 nov 2013 125147493 703x422



Bya HERBERT MUSOKE

MMOTOKA gy’olina ogikozesa mirimu ki ng’oggyeeko okugivuga ng’oliko gy’olaga n’okutikka ebintu?

Ggwe alina mmotoka ng’olowooza nti olina kugitambuliramu kugenda ku mikolo na kutikka by’amaguzi kyokka kati sisinkana loole ekika kya Thames Trade modo 1959 gy’okozesa okuweesa.

Dr. Peter M. Kiondo nnannyini mmotoka eno agamba nti wadde nkadde naye ekyatambula bulungi ddala, asobola okugikozesa okwokya wolodingi, okuwummula ebituli mu mabaati, okwakisa ettaala n’emirimu emirala egyetaagisa amasannyalaze okuva ku yingini yaayo.

Agamba nti mmotoka eno yagigula kuva ku kitongole ky’ebyeddagala mu Makerere Yunivasite mu 1999 nga yali emaze emyaka 30 ng’esimbiddwa awo tekozesebwa bwe yali etundibwa kkampuni ya Kamama Auctioneers abaatundanga ebintu bya Makerere.

 

ENGERI GY’EKOLA

Dr. Kiondo agamba nti mmotoka eno ng’ekyali mpya yaliko firiigi. Erina mita ezipima obungi bw’amasannyalaze g’efulumya era bw’omala okugikoleeza n’otuusa ku bungi by’amasannyalaze g’oyagala ng’osibira awo omuliro.

Wano obeera osobola okukola byonna by’oyagala okugikozesa nga yo etokota n’okufulumya amasannyalaze.

Ekozesa dizer, ku liita 35 esobola okutambula kiromita 200, ate nga singa obeera ng’ogikozesa mu mirimu gino emirala ng’okwokya wolodingi, okuwummula ebituli n’ebirala liita 18 zisobola okukola okumala essaawa 12.

Kitegeeza nti singa obeera nolina omukolo osobola okukozesa mmotoka eno nga jjenereeta okukuba ebidongo, okwakisa amataala era ng’osobola okugikozesa okutereeza eby’awaka gamba okwokya oluggi oba eddirisa erimenyese.

Dr. Kiondo agamba nti mmotoka nga zino ze zisaanira abantu mu nsi ezikyagula nga Uganda kuba obeera osobola okugikozesa emirimu emirala egikuyingiriza ssente mu kifo ky'okugula mmotoka z'okucakala obucakazi.

 

Loole ekozesebwa ne mu wolodingi yiino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...