TOP

Ggiyabookisi nayo yeetaaga saaviisi

By Musasi Wa

Added 16th January 2014

GGIYABOOKISI kye kimu ku bintu ebifuga emmotoka. Ng'oggyeeko yingin, ggoyabookisi eyinza okuba ng’ekwata kyakubiri okuba n’omugaso mu mmotoka.

2014 1largeimg216 jan 2014 120014497 703x422



Bya VIVIEN NAKITENDE

GGIYABOOKISI  kye kimu ku bintu ebifuga emmotoka. Ng'oggyeeko yingin, ggoyabookisi eyinza okuba ng’ekwata kyakubiri okuba n’omugaso mu mmotoka.

Kyokka baddereeva bangi Abantu bangi tebamanyi bukulu bwa ggiyabookisi  naye ate ge maanyi g'emmotoka era bw’enafuwa n'emmotoka ebeera nnafu

Ggiyabookisi y'ekyusa enziruka y'emmotoka, okugeza okugizza mu maaso oba emabega era y'efuga amaanyi g'emmotoka nga singa abeera muntu oyinza okugigeza ku maanyi g'obwongo.

Godfrey Gabula, makanika wa ggiyabookisi owa Jjajja Ggiya Garagi  e Katwe agamba nti ggiyabookisi kye kintu ekitatera kwonooneka ku mmotoka singa ebeera erabiriddwa bulungi.

Agamba nti abavuzi b'ebidduka bangi ggiyabookisi tebagifaako sso ng’ebizibu ebisinga okubaawo mu maanyi g'emmotoka biva ku butalabirira ggiyabookisi eno.

 

Ebika bya ggiyabookisi

Gabula agamba nti buli mmotoka ekolebwa ng'erina ggiyabookisi eyaayo eyenjawulo etakozesebwa mmotoka ndala. Wabula  ebika bya ggiyabookisi ebisinga okumanyibwa biri bibiri,  waliwo eya ‘Manual’ ne otomatiki. Eya ‘Manual’ erina amannyo agakyusa ggiya era buli ggiya ekyusibwa erina erinnyo lyayo ekitali ku ggiya bookisi ya otomatiki eterina mannyo wabula ekozesa masannyalaze.

 

Woyiro waazo

Ggiyabookisi  ya ‘manual’ ekozesa woyiro omukwafu ennyo okusinga woyiro omulala yenna. Emmotoka zikozesa woyiro azitowa CC90 oba 60 wabula owa ggiyabookisi eya ‘Manual’ aba azitowa CC140, bw’oteekamu atenkana buzito buno nakyo  kigyonoona.

Ggiyabookisi za otomatiki  zikozesa woyiro ayitibwa ‘Hydraulic’ (soma ayidoliki)  ono abeera muwewufu nnyo ate nga mutangaavu kumpi  kwenkana mazzi kuba yo tekozesa maanyi mangi. Wabula nayo yeetaaga okulabirira mu ngeri y'emu ng'eyo eya ‘Manual’.

Gabula era agamba nti woyiro  atatuukana na mutindo gwa CC140 oba omujingirire ayonoona ggiyabookisi n’efa obuwaya obuyitibwa ‘ring’ oba ‘synchronizer ring’ nga buli lw’oyingiza ggiya nga bukaaba.

Okusinziira ku Gabula, obuwaya buno n'amannyo bye bisinga okufa ku ggiyabookisi naye nga kiva ku butagirabirira bulungi oba okukozesa woyiro atatuukana na mutindo.

 

Endabirira yaayo

Ggiyabookisi okusigala mu mbeera ennungi yeetaaga okukolako saaviisi buli luvannyuma lwa myezi esatu okusinziira ku nkozesa yaayo.

Gabula agamba nti singa emmotoka ebeera  evuga eng’endo empanvu ate nga za binnya yeetaaga okukola saaviisi buli luvannyuma lwa myezi  esatu ate bw’ebeera ekola ng’endo nnyimpi ezitaliimu nnyo binnya na nfuufu yeetaaga saaviisi buli luvannyuma lwa myezi ena .

Bw’okola  saaviisi ku mmotoka ne ggiyabookisi yeetaaga okukolako saaviisi okusigala ng'ekola bulungi. Muno mubaamu okukyusa woyiro, bw’olwawo okumukyusa eyonooneka.

Emmotoka ennene zibeera ne ggiyabookisi nnene n'entono bwe zityo. 

Ggiyabookisi nayo yeetaaga saaviisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afandelameckkigozingannyonyola 220x290

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba...

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba eza Bobi Wine

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...

Nara 220x290

Poliisi etadde ebiragiro ku bifo...

POLIISI eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya....

Pati 220x290

Abaasimattuse abatujju e Kenya...

EGGULO ku Lwokusatu mu biseera eby’okumakya, pulezidenti wa Kenya yayogedde eri eggwanga n’ayozaayoza ebitongole...