TOP
  • Home
  • Emboozi
  • TOYOTA VITZ:Olw’okunywa ekitono zikyusiddwa kati zivuga n’empaka

TOYOTA VITZ:Olw’okunywa ekitono zikyusiddwa kati zivuga n’empaka

By Musasi Wa

Added 25th July 2014

NG’oggyeeko emmotoka ezimanyikiddwa ennyo mu muzannyo gw’emmotoka z’empaka omuli Subaru , Mitsubishi n’endala, kati abaagazi b’omuzannyo guno bayiiyizzaawo enkola y’okuvugisa Toyota Vitz , Allex ne Runx.

2014 7largeimg225 jul 2014 092448760 703x422

 

 

 

Bya PROCOPIOS LUMU
NG’oggyeeko emmotoka ezimanyikiddwa ennyo mu muzannyo gw’emmotoka z’empaka omuli Subaru , Mitsubishi n’endala, kati abaagazi b’omuzannyo guno bayiiyizzaawo enkola y’okuvugisa Toyota Vitz , Allex ne Runx.
 
Omukugu mu kuzimba mmotoka z’empaka mu Uganda, owa AutoSalon Uganda, Moses Sseguya agamba nti Bannayuganda babadde n’obutamanya okusinziira ku bye yalabye e South Afrika.
  
“Bwe nnali e South Afrika nnalaba abavuzi ba mmotoka z’empaka nga bakozesa Toyota Vitz ,YARIS, Runx ne Allex.
Wano mu Uganda, abantu baludde nga balowooza nti Subaru n’emmotoka endala ezirina ‘Turbo’ zokka ze zirina okwetaba mu muzannyo guno,” bwe yagambye Turbo kyuma ekinyumunguza empewo evudde mu ekizoosi ne kigiwoza mu intercooler ate oluvannyuma ne kigizza mu yingini olwo mmotoka n’efuna amaanyi ag’ensusso era n’ewenyuka buweewo.
Vitz oba Allex ekirungi kye zirina nti zaakolerwamu sisitiimu eziwewusa, ezinywesa ekitono kyokka nga zidduka nnyo.
Mw. Sseguya agamba nti mmotoka yo eya Vitz bw’oba oyagala ekyusibwe evuge emmotoka z’empaka oba omuzannyo omulala oyita mu mitendera.
 Okugeza mmotoka eya CC 1000-1600 eri mu N2, CC 1600-2000 N3 ne CC 2000-3000 N4 era bwe zibeera mu mpaka buli emu ebeera n’ekiti mw’egwa.
 
Obumotoka buno bulina enkizo ku mmotoka ennene kubanga bwo butono ate buwewuka okusinga Subaru oba Mitsubishi nga kino kiziyamba okudduka ennyo.
 
Abantu balowooza nti mmotoka y’empaka erina kubeera nga ezitowa nnyo,sso nga mmotoka gy’ekoma okubeera entono n’okuwewuka gy’ekoma okudduka. Sseguya ayongerako nti Vitz mmotoka nga eyabulijjo era yingini yaayo y’eya mmotoka eza bulijjo kyokka ekikyukamu gy’emitayimbye n’entebe ze bateekamu kubanga zibeera zanjawulo ku za bulijjo.
ENNYWA YAAZO:
Obuwanvu obwa kiromita 600, Subaru N10 enywa amafuta liita 300 ate yo Vitz enywa liita 100 era Vitz esobola bulungi okuvuganya ne Subaru N4.
EMIPIIRA
Mmotoka z’empaka zirina ekika ky’emipiira kye zirina okukozesa naddala nga ziri mu mpaka ku nguudo ez’ettaka. Sseguya agamba nti mmotoka nga Vitz oba Yaris zitambula bulungi naddala mu makoona kubanga zikozesaamagulu abiri kyokka nga Subaruekozesa amagulu ana erwana nnyokubanga ekozesa amagulu gonna.
 
“Vitz ne Runx zisobola okudduka okumalira ddala ennaku nnya nga tezifunye buzibu sso nga Subaru oba Mitsubishi tesobola kumalako nnaku ezo,” bw’agamba.
 
Mu Uganda kumpi buli muntu avuga Toyota kino kizifuula okubeera ennyangu okukanika era ebyuma byayo tebabiseera ng’ebya Subaru ne Mitsubishi Evo.
 
Omuvuzi wa mmotoka zino alina kubeera mugezi kubanga Subaru bw’etuuka ku luguudo olutereevu esumulukuka emisinde gy’otolabanga, kati owa Vitz oba Runx alina kumulindira mu makoona olwo naye yeeyagale.
 
Subaru efa nnyo, abazikanika batono ate ng’ebyuma byayo bigula buwanana.Kino kivuddeko abavuzi okwettanira obumotoka obutono ate nga n’omuzannyo gubanyumira.
 
 
 
 
 

 

TOYOTA VITZ:Olw’okunywa ekitono zikyusiddwa kati zivuga n’empaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala