TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Okuyingira ekibiina kya bodaboda kati osasula emitwalo 20

Okuyingira ekibiina kya bodaboda kati osasula emitwalo 20

By Musasi Wa

Added 14th August 2014

ABAVUZI ba bodaboda mu Nakifuma bongedde okusengejja mu bannaabwe abaagala okubeegattako okukola omulimu guno .

2014 8largeimg214 aug 2014 070351820 703x422

ABAVUZI ba bodaboda mu Nakifuma bongedde okusengejja mu bannaabwe abaagala okubeegattako  okukola omulimu guno .

Nga beegattira mu kibiina  kya Nakifuma  Combined  Bodaboda Operators  Association  baakyusizza mu ssemateeka waabwe . Kati buli ayagala okubeegattako asasula  100,000/-   eri oyo atalina bodaboda  ng'asuubira okweyambisa ku za banne abali ku siteegi.

Bo  abaagala okuyingira nga balina ne bodaboda basasula  200,000/-   okuva ku mitwalo 10 egyali gisasulwa mu ntandikwa.

Godfrey Kiyimba, omuwandiisi w'ekibiina kino mu lukiiko olwatudde e Nakifuma ku Lwokuna  yagambye nti  okwongeza  ensimbi  n' okumyumyula mw'abo abaggya abaagala okubeegattako kyavudde ku kwekengera abamu ku bavuzi ba bodaboda  abatalina buvunaanyizibwa  n'ababbi.

Yagambye nti bannakibiina kati bawera 180  wabula nga nga buli omu alondoolwa enneeyisa ye okulaba nga tali mu kibinja ky'abo abeenyigira  mu bubbi.

Nasser Matovu, maneja mu mirimu egy'ekikugu mu kibiina ekigatta aba yinsuwa mu ggwanga ekya Uganda Insurers Association yagambye nti bodaboda okufaanako n'emmotoka zirina  okuba ne yinsuwa za 3rd Party   ezizzibwa obuggya buli mwaka ku ku 46,000/-.

 

Okuyingira ekibiina kya bodaboda kati osasula emitwalo 20

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...