TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Mazda: Yeeyubudde ne bakolayo n’ekika ekinywa nga bodaboda

Mazda: Yeeyubudde ne bakolayo n’ekika ekinywa nga bodaboda

By Musasi Wa

Added 12th September 2014

Mazda ekutte ennyo Bannakampla omubabiro yeeyubudde! Eno y’emu ku mmotoka ezisinze okucaaka ku nguudo za Uganda, tewayita ddakiika ttaano n’otolabayo emu! Sso nga Mazda ezaasooka tebaazijjumbira nnyo, okutuusa lwe n’evaamu endala.

2014 9largeimg212 sep 2014 111628200 703x422

Bya BBOSA GONZAGA


Mazda ekutte ennyo Bannakampla omubabiro yeeyubudde! Eno y’emu ku mmotoka ezisinze okucaaka ku nguudo za Uganda, tewayita ddakiika ttaano n’otolabayo emu! Sso nga Mazda ezaasooka tebaazijjumbira nnyo, okutuusa lwe n’evaamu endala.

Mu kiseera kino waliwo ebika bya Mazda bitaano omuli Mazda Primacy, Mazda MPV Min Van,Mazda Demio, Mazda O6 ne Mazda Frendee.

Mw. Richard Kikonyogo, omusuubuzi w'emmotoka za Japan e Naggulu agamba nti tekitera nnyo kubaawo emmotoka okweyubula abantu ne bajjumbira ebika byayo byonna nga bwe kiri ku Mazda.

“Omwaka guno tewali mmotoka gye tusinze kutunda mu katale ka Uganda nga Mazda. Ate kyayambako
nti bagikyusizza nga kyangu okugyeggyako bw’oba ogikooye,” bw’agamba.

Abasinga bagigula lwa ndabika , Mazda Frendee eya famire ne MPV Min Van
obulungi mu ndabika. Vincent Kiryowa ow’e Namugongo avuga Mazda MPV Min Van. Agamba nti wadde yaakagivugira omwaka mulanba naye ekigimwagaza kuba yakula bulungi, eweesa ekitiibwa ate ya maanyi.

“Erina ggiya ttaano ne tekinologiya munda omuli ebifo ebiteekebwamu emizindaalo, ebisawo by’empewo wonna munda ebitaasa bw’oba ogudde ku kabenje, ate ngulumivu bulungi.

Esikira emabega ne mu maaso n’olwekyo temanyi kaseerezi wadde enguudo embi,” bwe yang’ambye. Mazda MPV Min Van eziriwo za modulo 2001, egula obukadde 16. Etwala abantu bataano, edduka sipiidi 180, ya cc 2500.
Bw’otogyetegereza oyinza okulowooza nti oli avuga Kluger, oba Harrier.


MAZDA BONG FRENDEE

Eno eyagala okufaananamu Regius.Eriwo kati ya modulo 2002, egula obukadde 23, sipiidi tesukka 180, etwala abantu musanvu. Mw. Abdul Kawiki, omusuubuzi w'emmotoka e Kyambogo agamba nti ekigyawula ku mmotoka za famire endala omuli Noah ye yingini yaayo eya cc3000. Ate ze tulina za ggiya, temuli ya otomatiki.

MAZIDA O6

Mw. Kawuki agamba: Kalungi eri abakyala era katono okugya mu kikula kyabwe. ku katale ka modulo 2000, kalina yingini ya cc 2000, katwala abantu bataano. Kalina sirinda nnya, kadduka sipiidi 180, amafuta kawoomerwa ga Petulooli.
MAZDA DEMIO

Katono mu ndabika naye kalabika nti ka kisajja obutafaanako ne Mazda Primacy. Akaliwo kati ka modulo 1998, kagula wakati w'obukadde omusanvu n’omwenda. Ka cc 1300, sipiidi 180. Ekizibu kye kalina kampi nnyo ku ttaka ate nga n’okuwewuka kawewuka nnyo.
 MAZIDA PRIMACY

Eno esinze kubeera mu bavubuka abali b'esswaga! Erabikira ddala nti ya kivubuka, erina engeri gyeng’ebyabyatala ku ttaka, wadde edduka sipiidi 180, amaanyi gaayo geeyolekera nnyo mu kugitandika. Mw. Fred Mazinga, makanika w'emmotoka okuva e Makerere agamba nti akamotoka kano kamulembe nnyo era kajja kuvuganya nnyo.
“Kajjidde mu kiseera ng'emmotoka ezaali zoogerwako okulya obulamu nga Subaru ne Golf bazidibizza,” bw’agamba

.
EBIZIBU BYA MAZDA

Waliwo ezimu ezinywa ennyo amafuta ate nga bw’ogenda okukyetegereza nga ze zisinze okujjumbirwa abantu. Sipeeya si mungi nnyo mu galagi era bw’ogenda nayo ku lugendo n’ekufiirako eyo oyinza okusulayo
 

Mazda: Yeeyubudde ne bakolayo n’ekika ekinywa nga bodaboda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko