TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ebisaanyizo 10 buli galagi by’erina okuba nabyo

Ebisaanyizo 10 buli galagi by’erina okuba nabyo

By Musasi Wa

Added 12th September 2014

Ebisaanyizo 10 buli galagi by’erina okuba nabyo

2014 9largeimg212 sep 2014 120025270 703x422

Bya Samuel Balagadde

WALI otaddeyo omwoyo okumanya oba galagi mw'otwala mmotoka yo okugikanina oba eriwo mu mateeka?

Galagi za mmotoka okufaanaanako n'emirimu emirala egy'obusuubuzi erina okubeerawo mu mateeka. Erina okuwa layisinsi n'emisolo emirala.

Wabula galagi zonna zirina obukwakkulizo bwe zirina okutuukiriza nga tezinnaweebwa layisinsi. Suzan Kataike, omwogezi wa Minisitule y'ebyenguudo n'entambula yagambye nti galagi mmotoka zirina okubaawo mu mateeka.
    Ebisaanyizo bya galagi
Buli galagi eteekwa okuba ng'erina ekifo ekizimbiddwaako ekikomera, ng'eri ku ttaka erimala okugisobozesa okukanika mmotoka z'abantu Eteekwa okubeera ne bamakanika abalina obutendeke mu by'okukanika okuva ku Dipulooma etandikirwako okudda waggulu

Erina okuba ne nnamba za galagi okuva mu kitongolea kya URA.
Zino okugezesa ekidduka ku luguudo nga kyakamala okukanikibwa. za galagi zifunibwa mu URA ku 223,000/- eri abasooka ate 281,000/- eri abo abazizza obuggya okwa buli mwaka.

Galagi eteekwa okuba n'abakuumi, ettaala ekiro okutaasa mmotoka ezibeera munda obutabbibwa.

Eteekwa okuba n'olunnya, ekifo awawanikibwa mmotoka ezikaninibwa naddala wansi.

Eteekwa okuba n'amazzi ga taapu okusobola okukuuma obuyonjo mu bakozi baayo.

Erina okuba n'ekifo awassibwa woyiro avudde mu yingini n'ebyuma ebirala okusobola okutaasa obutonde bw'ensi. lGalagi erina okuba awafuuyiribwa mmotoka ate nga tekisobola kufulumya langi mu bantu.

Galagi eteekwa okuba n'ebyuma bya ggaasi ebikola ku kuyunga n'okugattulula ebyuma .
Eteekwa okuba ne sitoowa omuterekebwa ebyuma ebiggyiddwa ku mmotoka
 

Ebisaanyizo 10 buli galagi by’erina okuba nabyo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...