TOP

Pikipiki ki esinga okukola ssente?

By Musasi Wa

Added 18th December 2014

ONOONYA kirabo kya kutonera gw’osinga okwagala ku Ssekukkulu? Muwe pikipiki! Kino ky’ekirabo ekisinga kubanga omuyamba okukekkereza ne mu mwaka omuggya!

2014 12largeimg218 dec 2014 100431437 703x422

Bya BBOSA GONZAGA


ONOONYA kirabo kya kutonera gw’osinga okwagala ku Ssekukkulu? Muwe pikipiki! Kino ky’ekirabo ekisinga kubanga omuyamba okukekkereza ne mu mwaka omuggya!

Ate bw’oba ogenda kuvuga bodaboda waliwo ebika bya pikipiki ebingi bye tulina buli kimu kirina kye kisinza ku kinnaakyo.

RAPID TORNADO EXPRESS

Kino kye kimu ku bika bya pikipiki ebyogerwako okubeera n'amaanyi n’okudduka ennyo. Edduka sipiidi 160 obutafaananako n’ekika ebirala ebivugibwamu bodaboda.

Erina yingini ya cc125, okumanya ekekkereza amafuta, liita y’amafuta etambula kiromita 70! Kwe kugamba nti bw’obeera mu bitundu by’e Mukono oba Kajjansi, amafuta aga 10,000/- ogatambulirako wiiki!

Egula 3,4000,000, naye ekirala ekigifuula eyenjawulo kwe kubeera n'obuuma obulabula ababbi obumanyiddwa nga 'alarm' ne leediyo eggirako eteetaagisa kuteekako ng'omaze okugigula. Erina ggiya nnya era zonna ozikuba ozizza mu maaso ate egumira bulungi ku ttaka

              Yakoob Ceasar ku Pikipiki y’ekika kya Bajaj Boxer

 

TVS STAR EMPYA

Eno y’ekyasinze okujjumbirwa abavuzi ba bodaboda mu Kampala. Mw. Ssekandi Swaibu, omusuubuzi ate nga makanika wa pikipiki mu Batemyetto Auto Parts e Ndeeba agamba nti ekisinze okugifuula ey'ettunzi gwe mutto gwayo omunene, ogutwala abantu abasatu ate nga bonna batudde bulungi.

Nayo nzirusi olw’ensonga nti edduka sipiidi 140 ate ng'erina yingini ya cc125. Nayo enywa bulungi ddala, ekozesa amafuta liita emu mu kiromita 70 lwakuba nti yeetaaga okubeera ng'okyusa woyiro buli wiiki okusobola okugiwangaaza.

BAJAJ BOXER

Eno ebadde emaze ebbanga ng'ewambye era singa si TVS Star empya eyazze singa ekyeriisa nkuuli.Mw. Ssekandi agamba nti kumpi buli kimu TVS Star ky’ekola n’eno ekikola lwakuba eno omutto gwayo gwakolebwa nga gutwala abantu babiri bokka era okussaako owookusatu obeera omenye mateeka saako okugivugira ku bunkenke obw’ekitalo.

Amafuta zinywa ge gamu, Ggiya nayo ekozesa nnya, zonna ziva Buyindi, wabula nga yo Bajaj edduka sipiidi ntono 110, egula 3,3000,000/-.

Tvs Star Enkola empya

   RIDER

Eno nayo eri ku katale era singa esanga omuntu agikutte obulungi, asobola okugiwangaaza wadde amaanyi gaayo tegatuuka ku ga Bajaj ne Tvs Star.Yingini yaayo ya cc100, egula 2,800.000/-, erina ggiya nnya zonna ozikuba zidda waggulu n’okekkereza amafuta.

MAHINDRA

Abantu bayinza okuba tebannagitegeera butegeezi naye nga nnungi. Yingini yaayo ya cc125, edduka okukamala, ate egula 3,400,000/-. Yakolebwa ng'erina ebyuma ebigumu era singa obeera ogikutte bulungi esobola okukukolera obulungi ssente n’oginyumirwa.

Platinum eno edduka lwakuba ewewuka.

  HERO                                                                                                                                 

 Eno eringa ey'ekikungukungu naye nga nnungi, edduka nnyo era sipiidi yaayo eggweera mu 140.Ekibi nti ewewuka nnyo ku ttaka, yeetaaga ng'omuvuzi agitegeera bulungi, amafuta nayo ennywa nga tadooba olw'ayingini yaayo eya cc100, ate egula 3 ,400,000/-.

SCHIMA

Eno nayo yaakajja ku katale, eva mu Asia. Mw. Jjingo Marvin, omutunzi wa pikipiki ku Bombo Road agamba nti ebiseera ebisinga ebbeeyi ya pikipiki bagikola okusinziira ku ngeri abantu gye babeera bagijjumbiddemu. Kati Schima ekyali ku ssente ntono, egula 2,800,000/- kyokka nayo ekekkereza amafuta.

YAMAHA CRACKS

Eno ebadde egezezzaako okulwa ku katale naye Bajaj bwe yajja n’egizibikira naye nga nayo teyandibadde mbi lwakuba abantu tebajijjumbira bujjumbizi. Bbeeyi yaayo ya kuteesa.

FREEDOM

Eno yagaana okutunda obulungi olw’ensonga nti amaanyi gaayo matono obutafaananako nga ziri endala ezitikka n’ebitereke. Mw. Jjingo agamba nti tebakyazireeta, zitambula kitono ku katale k'e Uganda olw'obunafu bwayo ate nga Bannayuganda bettanira okuttika obubindo ky’etesobola.

 

Pikipiki ki esinga okukola ssente?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...

Noonya 220x290

Ofiisa gwe baakutte ku by'okutta...

OFIISA wa poliisi gwe baakutte ku bya Kirumira, amagye gamubuuzizza ebyaliwo mu kiro kya September 8, 2018; olunaku...

Kadas 220x290

Bannayuganda abasuubulira e Juba...

SIPIIKA Rebecca Kadaga agambye nti akitegeddeko nti gavumenti ya South Sudan eyagala kweddiza katale akaazimbibwa...

013 220x290

Okuwandiika aba LDU kutandika Lwakubiri...

OKUWANDIIKA abaserikale ba LDU mu Kampala n’emirirwano abagenda okwongera okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga ...

Davidkyagambiddwamatovungayogerakumukolo 220x290

Bannakyaggwe mweyongere okuzaala...

SSEKIBOOBO Alex Benjamin Kigongo alagidde Bannakyaggwe okuzaala, n'okubugiriza Kabaka ng'alambula bulungi bwa nsi...