TOP

Takisi ekyalimu ssente?

By Musasi Wa

Added 6th August 2015

EKITONGOLE ekisolooza emisolo kyayongezza emisolo ku bintu ebitali bimu omwaka guno era emmotoka, amafuta ne sipeeya waazo n’alinnya ebbeeyi.

2015 8largeimg206 aug 2015 105646220 703x422

Bya LAWRENCE KITATTA NE PROSY NABABINGE

EKITONGOLE ekisolooza emisolo kyayongezza emisolo ku bintu ebitali bimu omwaka guno era emmotoka, amafuta ne sipeeya waazo n’alinnya ebbeeyi.

Omusolo ku mmotoka enkadde guli ku bitundu 35 ku 100 ku mmotoka ezisuubulwa enkadde. Omusolo guno gwali ku bitundu 20 ku 100. Omusolo ku sipeeya omukadde ogwali ku bitundu 10 ku 100 kati guli ku 25 ku 100.

Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija yategeeza nti okwongeza omusolo ku mmotoka enkadde ne sipeeya waazo kyakolebwa kutaasa butonde bwa nsi olw’omukka omubi oguzivaamu.

Wabula omusolo guno gye gukomye okulinnya ate aba¬vuzi ba takisi nabo okukaaba. Buli kimu kye bakozesa mu mulimu gwabwe kirinnye ebbeeyi.

Muno mulimu mmotoka zennyini, sipeeya, emipiira, amataala, endabirwamu n’ebirala. Gujabagidde amafuta bwe gaalinnye okuva ku 3,000/= (peetulooli) oku¬tuuka ku 3500/= ate dizero okuva ku 2500/= n'agenda ku 3050/= oba 3100/=.

Bangi ku baddereeva baagambye nti ennaku zino balinga abatuukiriza omukolo okuva awaka kuba tebakyafuna mu takisi.

Sipeeya wa mmotoka yalinnya bbeeyi okuva nga July 1

Omusolo gwa PSV gubadde ku 80,000/- buli mwaka, kati guli ku 300,000/-; PAYE musolo ogubaddewo naye nga tegussibwa mu nkola, kati takisi esasula 280,000/- omwaka. Oluvannyuma lwa bino byonna, abatunda mmotoka nabo baazikaalamizza bbeeyi.

Mu kiseera kino okugula takisi ebadde eggweera mu bukadde 48 - 50 kati eri mu bukadde 60 ng'evudde mu bondi okutuuka ku kkubo.

Aba bbaasi nabo bakaaba, buli mutto bwe guba gusa¬sula 20,000/- ng’omusolo gwa PAYE ogwa buli mwaka, emitto 67 ziba 1,340,000/=!

TAKISI EKYALIMU SSENTE?
Rich¬ard Mangeni, akolera ku siteegi y’e Mukono mu ppaaka enkadde, agamba nti takisi mu kiseera kino bakuumirako bulamu.

“Ssente ze kutoka ebiseera ebisinga obungi tuzireka mu makubo.
Takisi yange esula Mukono naye bw’etuuka ku siteegi bw’eti w'ogenda okutikkira nga tonnaba kukola olekawo 3,500/= za kanso y’e Mukono. Ate ezo za buli lunaku.

Akutikka bw’agijjuza omulekera 2,000/- buli lutikka. Kitegeeza nti bw’osomba emirundi etaano ziba 10,000/= olunaku. Bw’otuuka e Bweyogerere osasula 2,000/= eza kanso y'e Kira, olwo n'oyingira Kampala, buli mwezi n’osasula 122,200/=,” Mangeni bwe yagambye.

Agamba nti takisi eriisa abantu bangi olunaku. Kuliko omugagga nnannyini yo, oyo batera kusaba 80,000/- olunaku bw’eba ekola mu bitundu ebyetoolodde Kampala.

Eno olunaku etera kuvuga luutu ssatu ku ttaano naye nga buli agitikka mu ppaaka omusa¬sula 2,000/=. Kwe kugamba nti olunaku esasula wakati wa 6000/= - 10,000/= . Ssente za ppaaka eza buli takisi buli lunaku zibeera 3,000/=. Ate takisi bw’etuuka ku kkubo, siteegi gy’oggyako abantu abasoba bu basatu erina okulekawo ssente.

‘Kuno kw’ossa abattulafiki abaatufuula olusuku b’owa ku ssente,” bwe yagambye.

Agamba nti obudde we buzibira nga takisi ekoze emitwalo nga 17 ku 20 naye nga bw’oggyako ez’omugagga, kondakita 15,000/-; ddereeva 20,000/- ezisinga ziggweera mu kkubo.

Kyokka zino ziyinza kufissibwa bavuga ng’endo mpanvu, naye abavugira mu kibuga nga buli kiseera babeera mu nsobi bangi tebafissa.

Edward Ssentongo, Ssentebe wa Busia Stage mu ppaaka enkadde agamba: Takisi zituuse okutulema, buli lukya omulimu gweyongera kukaluba.

Bw’oggya omusolo ku mitwalo munaana n’oguzza ku mitwalo 28 kiraga nti waliwo ekitali kituufu.


SIPEEYA W’EBIDDUKA NAYE ALINNYE

Sipeeya naye yapaala kuba naye yassibwako omusolo. Messiah Kasozi atunda sipeeya ku Spear World ewa Kisekka agamba nti ebintu ebyalinnya bbeyi mulimu na bino:
1. siteeringi ya Kigege (kipeesa),yavudde ku 150,000/= n’edda ku 180,000/=
2. Obukwawa, bwavudde ku 50,000/= buli ku -70,000/=
3. Sakabuzooba yavudde ku 20,000/= eri ku 25,000/=
4. Giyabookisi empya yavudde ku 800,000/= eri ku - 850,000/=
5.Bulekefuudu yavudde ku 5,000/= ali ku 10,000/=
6. Drum yavudde ku 140,000/= ali ku 160,000/=
7. puleeti yavudde ku 40,000/= ali ku 50,000/=
8.Sirindaheedi yavudde ku 740,000/= eri ku 800,000/=
9. Amataala, eddene lyavudde ku 25,000/= liri ku 60,000/=, erya paakingi liri wakati wa 15,000/= ne 20,000/=.
10. Wind Screen yavudde ku 110,000/= eri ku 130,000/=
11. Indicator yavudde ku 20,000/= eri ku 30,000/=
12. Filter(ekyangwe) yavudde ku 50,000/= eri ku 70,000/=
13.Ebiziyiza seeti yaabyo yavudde ku 60,000/= eri ku 70,000/=
14. Endabirwamu (side mirror) yavudde ku 100,000/= eri ku 120,000/=.

Takisi ekyalimu ssente?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.