TOP

Engeri okubeera ne pamiti gye kikweka baddereeva ab’ekibogwe

By Herbert Musoke

Added 5th February 2016

Ate mu 2014, abantu 2,845 be baafiira mu bubenje nga ku bano 82 ku buli 100 bwava ku bikolwa by’abantu naddala baddereeva ng'okuvuga nga batamidde, okuvuga endiima, okutikka akabindo, okuvugisa ekimama n'ebirala.

Gyo 703x422

Bangi abavuga mmotoka za otomatiki bamanyi kutereeza, naye ng’obubonero bw’oku nguudo n’enneeyisa tebabimanyi.

EBIKOLWA by'abantu kimu ku bisinga okuvaako obubenje ku nguudo za Uganda. Mu lipoota ya poliisi eya 2013, abantu 15,690 be baafiira mu bubenje obwava ku bikolwa by'abantu ku 17,283 abaafuna obubenje omwaka ogwo.

---------------------------------------------------------------------

Ate mu 2014, abantu 2,845 be baafiira mu bubenje nga ku bano 82 ku buli 100 bwava ku bikolwa by’abantu naddala baddereeva ng'okuvuga nga batamidde, okuvuga endiima, okutikka akabindo, okuvugisa ekimama n'ebirala.

Lipoota eraga nti abantu 208 be battibwa baddereeva abatamidde, okuvugisa ekimama 505, okudduka endiima 490 n'ebirala omuli okuvuga nga tebalina pamiti, n'obutawanhhana kitiibwa ku nguudo.

Wabula kyewuunyisa nti bangi ku baddereeva abakola ensobi ku nguudo balina pamiti! Poliisi y’ebidduka etunuulira pamiti ng’akabonero akalaga obutendeke bwa ddereeva, sso nga lipoota eraga obubenje obugwawo kino ekiwakanya.

Kati ekyebuuzibwa, ddala ddereeva omutuufu y'aliwa? Godfrey Kiweewa, atendeka okuvuga mmotoka agamba nti ddereeva omutuufu alina okubeera ng'amanyi bulungi obubonero bwonna obuli ku nguudo n'enkozesa yaabwo kubanga bwe bufuga entambula y'ebidduka.

"Ddereeva omutuufu alina okumanya ebikwata ku nkola y'ebyuma bya mmotoka ebyangu era ng'amanyi enkyukakyuka mu mbeera ya mmotoka ye ne kye kitegeeza. Kikulu okumanya mmotoka nga yaakafuna ekizibu n'okikolako mangu.

Obutamanya nkola ya mmotoka kivaako okwonoona mmotoka, okugeza ssinga ekulaga ng'amazzi gaweddemu n'otofaayo kiyinza okuvaako yingini okukuba", Kiweewa bw'annyonnyola.

Okusinziira ku mukwanaganya wa poliisi y'ebidduka n'omuntu wa bulijjo, IP Monica Ndirugendawa omuntu yenna atalina pamiti tabeera ddereeva mutuufu ne bw'abeera mmotoka agivugira ku mu nsi yonna.

"Ddereeva omutuufu alina okubeera nga yayita mu ssomero eritendeka okuvuga mmotoka n'atendekebwa byonna ebikwata ku kuvuga mmotoka omuli amateeka, obubonero, ebikwata ku mmotoka era ng'abimanyi mu bigambo n'ebikolwa", IP Ndirugendawa bw'annyonnyola.

OKUFUNA PAMITI Ip Ndirugendawa annyonnyola nti ennaku zino okufuna pamiti kwakyusibwa nnyo, tekyali bya muntu kukufunira pamiti kubanga olina okugenda ku Face Technology okukuggyako ebikukwatako omuli ebinkumu.

Okusooka olina okwewandiisa mu ssomero eritendeka okuvuga mmotoka erigenda okukutendeka mu byonna ebikwata ku kuvuga mmotoka era olina n'okuwandiika notisi. Ofuna pamiti y’abayiga (Learners Driving Permit) ng'eno ya myezi esatu.

Oluvannyuma ettendekero lirina okukuwa satifikeeti ekakasa nti oyise bulungi gy'ogenda nayo okugezesebwa ew’omukungu wa poliisi akebera mmotoka n’okugezesa baddereeva (IOV).

Ssinga ogwa okugezesebwa olina okuddayo mu ssomero ne baddamu okukusomesa ate ssinga oyita olwo oweebwa satifikeeti gy'ogenda nayo ku URA okusasula olwo n'otwala empapula ku Face Technology n'oweebwa ‘Temporary Driving permit’ ng'eno ebeera ya nnaku 28 nga mu nnaku zino mw'olina okufunira pamiti entuufu.

Mu ngeri y'emu ssinga obeera ng'oyagala kwongera kkiraasi mu pamiti, era olina okuddayo ku ssomero okukuyisa mu by'osuubibrwa okukola era ne bakuwa satifikeeti gy'ogenda nayo ewa IOV okugezesebwa, bw'oyita naye gy'akuwa gy'otwala mu URA ne Face Technology okukuwa kkiraasi gy'osabye.

SSENTE EZEETAAGISA

  • Learners Permit; Eno eweebwa abagenda okufuna kiraasi; A, B, H ne F, osasula 24,000/- mu URA nga kuliko n'eza bbanka ate ku Face Technology osasula 30,000/-. lOkugezesebwa osasula 25,000/- nga kuliko n'eza bbanka.
  • Okufuna pamiti entuufu kusinziira ku myaka gy’oyagala; ey'emyaka esatu osasula 66,000/- ate omwaka gumu 56,000/- mu URA ate mu Face Technology osasula 60,000/-, zino kubeerako n'eza bbanka.
  • Okuzza obuggya; Emyaka esatu osasula 56,000/- ate omwaka gumu osasula 46,000/- nga zino ozisasula mu URA ate mu Face technology osasula 60,000/- nga zino kuliko n'eza bbanka.
  • Okwongeramu kkiraasi ng'olina kkiraasi B entuufu ofune kkiraasi nga G, E, I, CM, CH, DL, DM, DH osasula 41,000/-, n'okugezesebwa 25,000/- nga zino za URA ate Face Technology osasula 60,000/- nga zino zibeerako n'eza bbanka.
  • Okuzzaawo pamiti ebuze, osasula 41,000/- mu URA ate Face Technology n'osasula 30,000/- nga kuno kuliko n'eza bbanka.
  • Okukyusa pamiti okuva mu y'ebweru; Osasula 66,000/- mu URA ne Face Technology n'osasula 60,000/- nga kuliko n'eza bbanka. 

IP Ndirugendawa agamba nti okufuna kkiraasi evuga mmotoka y'abasaabaze omuli DL, DM ne DH olina okuba ng'obadde ne kkiraasi D okumala emyaka etaano n'okudda waggulu. Kyokka baddereeva bagamba nti omuntu okubeera ne pamiti tekimala kubeera ddereeva mutuufu kubanga bangi abasse abantu naye nga babadde ne pamiti kubanga mu Uganda waliwo abantu abayisa ebintu mu madirisa.

Lamek Kasule, ddereeva ku siteegi ya Lyantonde- Masaka agamba nti, “Ku guno omulembe gwa mmotoka za otomatiki tosobola kugamba nti omuntu okubeera ne pamiti kimufuula ddereeva omulungi kubanga abantu bangi oluyiga okutereera mu kkubo ng'agulirira kufuna pamiti".

Ono agamba nti waliwo ebintu ebirala ebifuula omuntu okubeera ddereeva omulungi ng'ebisinga biviira ddala ku nneeyisa y'omuntu oyo kubanga abasinga bakola ensobi lwa butabeera na nneeyisa nnungi naddala okuwa abalala abakozesa oluguudo ekitiibwa n'okugoberera amateeka.

Godfrey Kawombe, omusuubuzi ku Kaleerwe era nga ddereeva agamba nti ddereeva omulungi alina okubeera nga yeefuga yekka. "Kino kitegeeza nti omuntu amanyi ky'alina okukola ekiseera kyokka, ng'agoberera obubonero n'amateeka si kulinda kulaba muserikale wa tulafiki olwo akole ekituufu,” bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai