TOP

Engeri y’okwewala akalippagano k’ebidduka ku luguudo lwe Ntebe

By Patrick Tumwesigye

Added 3rd March 2016

OLUGUUDO lw’e Ntebe lwe luguudo lwokka lwe tulina olututwala ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ne mu maka g’obwapulezidenti.

Malawo1 703x422

Akalippagano nga kano ku luguudo lw’e Ntebe kaafuuka ka buli lunaku.

OLUGUUDO lw’e Ntebe lwe luguudo lwokka lwe tulina olututwala ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ne mu maka g’obwapulezidenti.

Lutambuza abakungu bangi okuli omukulembeze w’eggwanga n’abagenyi ab’enjawulo abakyalira Uganda oba nga bazze mu nkuhhaana ez’enjawulo.

Wabula newankubadde ng’oluguudo luno lukulu nnyo eri eggwanga, obulippagano bw’ebidduka tebuluggwaako naddala ku makya ng’abantu bagenda ku mirimu n’abaana nga bagenda ku masomero n’ekiro nga badda awaka.

EBIFO EBISINGA OKUBEERAMU AKALIPPAGANO

Ku luguudo lw’e Ntebe, akalippagano kasinga kubeerawo ku makya n’olweggulo mu nnaku ez’okukola (okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano) ate ku Lwomukaaga atera okubeerayo emisana.

Ku makya naddala mu biseera by’abaana eby’okusoma, akalippagano katera okutandika ku ssaawa 12:30 okutuuka ku ssaawa 3:00 ez’oku makya nga katandikira Lweza-Kajjansi, Sseguku okutuuka e Zana eri abadda e Kampala.

Ng’oyisizza Zana, akalippagano kaddamu Najjanankumbi oluusi okutandikira ku Freedom City oba ku Siteera e Namasuba.

Lwaki akalippagano kabeera mu bifo bino

Essaawa z’oku makya, abantu babeera bangi abagenda ku mirimu ng’ate abasinga bagendera mu mmotoka zaabwe abalala ne balinnya takisi ekireetera emmotoka okubeera ennyingi ku kkubo.

Olw’okuba ng’abazadde baba batwala abaana ku masomero, emmotoka ezisinga obungi zibeera ziva ku kkubo nga ziweka ku masomero ag’enjawulo ate endala nga zidda ku kkubo okuva ku masomero ekintu ekyongera akalippagano.

Emmotoka ziriooaganira nnyo ne ku nkulungo e Kibuye olwo akalala n’okasanga ku ssaawa ya Kkwiini.

Okwewala akalippagano  ku luguudo luno

1. Julius Tamale, akolera mu Kampala ng’avuga mmotoka ye ey’obuyonjo agamba nti ng’ova e Ntebe okudda e Kampala, tewali makubo mangi g’oyinza kuyitamu n’osala akalippagano wabula oyinza okusalirako e Zana n’oyita e Nyanama, Kabowa n’ogwa mu Ndeeba awo n’odda ku Lubiri n’oyitira mu Kisenyi okutuuka wakati mu kibuga.

Wabula ekkubo lino newankubadde nga bangi balikwata okwewala akalippagano, ate beesanga batubidde kubanga abantu oluusi bafuna endowooza y’emu ne baddukira eyo ne beesanga ng’akalippagano nayo kabakwatiddeyoo ate ekisinga obubi nti poliisi y’ebidduka eyimirira mu Ndeeba erwawo okuta emmotoka zino ne balowooza ku ziri ku luguudo lunene.

Ng’ova e Kampala okudda be Ntebe, akalippagano k’ebidduka kasinga kubeerayo budde bwa kawungeezi.

2. Amasomero agali ku luguudo luno, gasaanye okukwatagana gate abayizi ku biseera eby’enjawulo okwewala akalippagano.

Ng’odda e Ntebe, akalippagano katera kutandika ku ssaawa 12:30 oba ku ssaawa emu ey’akawungeezi. Wano ng’oggyeeko ku bitaala by’oku ssaawa ya Kkwiini, akalippagano akalala okasanga Katwe okutuuka ku nkulungo y’e Kibuye.

Bw’ova awo, akalippagano akalala akanene kali Namasuba ku siteegi okutuuka ku nkulungo ya Zzana wano atera okutandika saawa 11:00 ez’akawungeezi olw’abaana ababeera baggyibwa mu masomero okutuusa ku ssaawa nga ssatu ez’ekiro abantu abava mu Kampala okudda eka nga bakendedde.

3. Okwewala akalippagano kano, omuntu asobola okuyitira ku Lubiri n’odda mu Ndeeba, n’oyitira e Nyanama n’ogguka e Zzana era oluguudo luno lwakolebwa bulungi. Wabula era jaamu oddamu okumusanga e Zzana.

4. Wabula ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kikola oluguudo lwa Entebbe Express Highway, olujja okuba olw’okusasulira. Luno lwakukendeeza akalippagano ku luguudo lw’e Ntebe.

Abasinga okuleeta akalippagano

Ebiseera ebisinga enkula y’enguudo naddala mu nkulungo n’enguudo ezisala mu zinnaazo zireeta akalippagano kubanga weesanga ng’enguudo nga nnya zeegattira wamu oluusi ekivaako akalippagano.

Baddereeva b’emmotoka ne bodaboda nabo ebiseera ebimu bakola kinene okuleeta akalippagano, tebalekera, bavuga ndiima n’ekimama ekireeta akalippagano.

Joseph Mukiibi, ddereeva wa takisi ku siteegi y’e Ntebe mu ppaaka enkadde agamba nti aba poliisi y’ebidduka (tulafiki) nabo baleeta akalippagano naddala ku nkulungo nga bataako emmotoka ezimu ate endala ne bazeerabira.

Okugeza ku ssaawa ya Kkwiini, emmotoka eziva mu ppaaka enkadde, bayinza okuzisiba okumala essaawa nnamba ng’endala zitambula!

5. Minisita w’ebyentambula, Ying. John Byabagambi, yagambye nti Gavumenti efuba okulaba ng’enguudo eziddaabirizibwa ennaku zino zissibwako ab’ebigere n’ab’obugaali ne pikipiki we bayita. Yagambye nti kino kimu ku biyinza okumalawo akalippagano ku nguudo nga olw’e Ntebe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa