TOP

Baddereeva balaze Kagina obufere obuli ku minzaani z’oku nguudo

By Samuel Balagadde

Added 28th March 2016

Bagamba nti abamu ku bakozi ba UNRA abakola ku minzaani ezipima abatisse akabindo tebakimanyi nti bali mu busuubuzi, babawa ebibonerezo eby’okubalemesa, oluusi mu bukyamu.

Bad 703x422

Lukululana ng’epimwa ku minzaani e Luweero wiiki ewedde.

BADDEREEVA ba lukululana beemulugunyirizza abakungu b'ekitongole kya UNRA olw'abakozi baabwe ababayisa obubi.

Bagamba nti abamu ku bakozi ba UNRA abakola ku minzaani ezipima abatisse akabindo tebakimanyi nti bali mu busuubuzi, babawa ebibonerezo eby’okubalemesa, oluusi mu bukyamu.

Abamu ku baddereeva abalina mmotoka ezaabadde zikwatiddwa ku minzaani e Luweero beeyambisizza omukisa gw'akulira ekitongole kino Allen Kagina okukyalayo ne bamulaga ebizibu bye bayitamu.

Mw. Mike Wanyama eyabadde avuga mmotoka ng'atisse ebyamaguzi okuva mu Kampala okudda ku nsalo ya Uganda ne South Sudan yagambye nti mmotoka ye ekika kya Fuso nnamba UAM 180N yakwatibwa ku Ssande ewedde wabula kkooti n'emusalira engassi ya mitwalo 10.

“ Bwe nava mu kkooti, napangisa mmotoka endala okuva mu Kampala okutikka obuzito obwa ttani 7 obwali buyiseemu ng'etteeka bwe ligamba wabula abakozi ba UNRA ne bagaana nti kkooti yampeesa engassi ntono nnyo,” Wanyama bwe yategeezezza Kagina.

Wanyama yeemulugunyizza nti wadde emmotoka baagitadde, naye ebyokunywa bye yabadde atwala byayononese kuba byefumbye olw’akasana akangi ennaku zino.

Isma Makanga, ddereeva wa loole yagambye nti akulira minzaani y’e Luweero yamuyimiriza nga yaakamala okupimibwa n'alagira mmotoka ye eddemu epimibwe wabula ye (akulira minzaani) n’asigala nga yeebase mu mmotoka ye eya buyonjo okumala ekiseera nga tafuddeeyo kumanya nti bali mu busuubuzi.

Mw. Kaweesa okuva mu kibiina ekigatta baddereeva ba loole ekya Regional Lorry Drivers and Transporters Association (RLDTA) yagambye nti wakyaliwo obuzibu wakati w'abakozi ku minzaani ne baddereva obwagala okulongoosa ssaako empima ya minzaani eteri nnambulukufu, Muky. Allen Kagina, akulira UNRA yagambye nti bamaze okugula minzaani ezitambuzibwa ku mmotoka za bukadde 160 zonna wamu nga tebasuubira baddereeva kuddamu kuzeemulugunyaako.

Yagambye nti minzaani zino zigenda kuyamba okukwata mmotoka naddala ez'omusenyu ezeebalama minzaani ezitava mu kifo ezassibwa ku nguudo ez'enjawulo nga basalawo okuyita mu buwunjuwunju.

Yagambye nti UNRA ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku baddereeva kye bagamba nti minzaani tezikwatagana kuba etteeka lyassaako ebitundu 5 ku 100 ku buzito obuba buyiseemu okuba nga tebubalibwa.

Yagambye nti bagenda kukola ennongoosereza mu tteeka erifuga ebidduka n'okulwanyisa obubenje erya 1998 nga lye lifuga ne minzaani ku nguudo basseemu akawaayiro k'engassi eya kagwirawo kitaase baddereeva obuzibu bw'okugenda mu kkooti.

"Twapimye mmotoka ez'enjawulo ne minzaani ne tusanga nga waliwo okukyukakyuka mu buzito wabula kino kiba kisuubirwa,” bwe yagambye.

Muky. Kagina yatutte bayinginiya e Katuugo ku lw’e Nakasongola ne bapima ne bakakasa nti ddala oluguudo mu kitundu kino lufunda.

Wano tewaggwa bubenje bwa mmotoka ennene. Oluguudo lwasangiddwa nga lwa mmita mukaaga, sso ng’enguudo endala ezisinga za mmita musanvu.

Mw. Willy Katende, Ssaabawandiisi w'ekibiina ekigatta baddereeva ba bbaasi ekya Uganda Bus Drivers and Allied Association (UBDAA) yagambye nti poliisi y'ebidduka enoonyereza ku bubenje yandibadde nneesimbu ku kunooyereza kwayo kuba e Katuugo tebuggwaawo.

ETTEEKA LYA MINZANI

Etteeka lya minzaani (Weighbridge Regulation lyayisibwa mu 2010 wansi w'etteeka erifuga ebidduka erya 1998.

Etteeka lissa ekkomo ku buzito bwa ttani 56 nga kuno ogasseeko obuzito bwa mmotoka n'obw’ebyamaguzi.

Etteeka liwa obuzito obutasukka ttani 10 ku akizolo z'emabega ate ttani munaana ku akizolo okuli siteeringi ya mmotoka.

Liragira obuzito obuba busangiddwa nga buyiseemu butikkulwe bussibwe ku mmotoka endala oluvannyuma lwa ddereeva okuwa engassi.

Etteeka likwata obuzito obuba busukkulumye mw’obwo obukkirizibwa eri buli kidduka n'okuzito obuba bususse obwa buli akizolo wabula nga UNRA ekwasisa buzito bwa wamu oluvanuyuma lwa baddereeva okwekubira enduulu nti ebyamaguzi biseeseetuka okuva ku akizolo emu okudda ku ndala naddala mu binnya ne mu bikko oba ku busozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.