TOP

‘Abantu 9 bafiira mu bubenje bwa takisi buli lunaku’

By Joseph Mutebi

Added 2nd June 2016

BADDEREEVA ba takisi mu Kampala basomeseddwa obukodyo n’engeri gye bayinza okukendeezaamu okukola obubenje naddala mu nnaku nga zino ez’okulamaga e Namugongo.

20121largeimg223jan2012002147323703422 703x422

BADDEREEVA ba takisi mu Kampala basomeseddwa obukodyo n’engeri gye bayinza okukendeezaamu okukola obubenje naddala mu nnaku nga zino ez’okulamaga e Namugongo.

Bayigiriziddwa n’okumanya bwe bavugira ku nguudo ng’olw’e Ntebe oluyisa abakungu n’abagenyi ab’ebitiibwa abajja mu ggwanga.

“Ddereeva yenna avuga ekiduuka naddala ekisaabaza abantu abangi osaana okimanye nti bw’otuula ku siteeringi obeera owaniridde obulamu bw’abantu bangi noolwekyo osaana okuvuga n’obwegendereza ng’omanyi nti ebizibu byo tobikkiriza kukosa balala,” bwatyo Paul Kwamusi omukugu ku byentambula okuva mu kitongole kya Viva Energy bwe yabasomesezza.

Omusomo guno gwategekeddwa ab’ekibiina ky’abakozi ekivunaanyizibwa ku bagoba b’ebiduuka ekya ATGWU, baddereeva ba takisi okuva mu kibiina kya KOTSA ekikulemberwa Yasin Ssematimba abasobye mu 500 mwe beetabye okubabangula oluvannyuma lw’aba Viva Energy okuteekamu ssente.

Ssematimba yagambye nti ye nga ssentebe w’abatakisi akimanyi nti baddereeva okukola obubenje kiva ku basinga okubeera abalagajjavu ne bamala gavuga ndiima n’okuyisa mu ngeri eteri ya buvunaanyizibwa, obutamiivu n’okuvuga nga tebawummula n’ebirala ne bivaako mmotoka okubalemerera ne bakola obubenje.

Yalabudde baddereeva obutakoma kusoma bivaako bubenje byokka ne beerabira okukwata omulimu gwabwe mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa naddala okumala gayisaamu abasaabaze amaaso ng’ate be bakama baabwe.

Kwamusi yategeezezza baddereeva nti buli lunaku abantu mwenda be bafiira mu bubenje bwa mmotoka za takisi, kye yagambye nti kibi nnyo mu nsi nga Uganda ekyakula.

Yayongeddeko nti ensonga lwaki bafuba okusomesa aba takisi kubanga bo batwala abantu bangi ng’ate bakwata kyakusatu mu kukola obubenje ng’abasooka ba mmotoka za buyonjo ne kuddako aba bodaboda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa