TOP

Kayiira eyakola emmotoka ya Uganda 1 azze ne nkuba mpya.

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2016

Kayiira eyakola emmotoka ya Uganda 1 azze ne nkuba mpya.

Mot2 703x422

Kayiira mu jaketi eyakyenvu ku mmotoka ye gy'ali mu kukyusa okugifuula Pick-up

KAYIIRA omusajja amanyikiddwa ennyo mukubeera n'obwongo ssaako n'obukujjukujju oluvannyuma lw'okkola emmotoka gyeyatuuma Uganda 1 mukiseera kino azze nenkuba mpya  .

Omusajja ono jjukira nti yaddamu ebibuuzo bya Bukedde ebikwatagana n'ebidduka buli lwakuna agamba nti asazeewo emmotoka ye eya Uganda 1 okugikyusa agifuula Pick-up olwensonga nti Uganda 1 gyeyakola mu 2012 ebadde terina bbuutu ate ng'ekoma ku sipiidi 120 kati kwekusalawo agifuule Pick-up kimuyambengako okutikka obulungi ebintu bwabeera atambudde olugendo oluwanvu.

 

Kayiira agamba nti yandibadde asobola okkola emmotoka endala ne zibeera bbiri naye yabadde talina ssente zimala kwekusalawo okukyusa eno gy'agenda okutongoza mu Aug omwaka guno.

Palamenti  yasiima Kayiira olw'okubeera n'obwongo era emmotoka ye yeeyesigamizibwako okuzuula Uganda weetuuse kati mubya tekinologiya.

 Yatandika okukyusa emmotoka eno mu september wa 2015 era ng'ayagala Ssabasajja Kabaka oba Pulezidenti Museveni kwekuva abeera agituuma erinnya.

Egenda kuba edduka sipiidi 180 ng’ekozesa mafuta ga Petulooli nga buli lugendo oluli mu Uganda ejja kuba etukaayo agitaddeko ekyuma ekigenda okuba kisika mmotoka endala eziba zifunye obubenje .

 

Mu Kiseera kino  Kayiira yakakozesa obukadde 55  okuva mu nsawo ye nga wano waasabira Gavumenti  oba omuzira Kisa yenna ayagaliza Uganda okugenda mu maaso amuwe ssente agimalirize nga terina ky’ebanja

 ickup ya ayiira bweti bwefaanana wadde nga tennaggwa Pick-up ya Kayiira bweti bwefaanana wadde nga tennaggwa

 EBYENJAWULO KAYIIRA BYAGENDA OKUSA KU MMOTOKA ENO

Amataala  ekika kyago mapya nnyo wano Uganda Spot  Lights  zanjawulo zaaka ekiro  n’olaba ng’emisana ye yazeekoledde Mmotoka egendako ensawo y’amanda n’amatooke agasoba 10 ,

Yingini ya CC1800 Okunywa amafuta ejja kuba enywa kitono  nga buli kkiro mita 60 ejja kuba enywawo liita satu Tanka yaayo yagitadde mabega 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yop2 220x290

Production beetisse ekyemizannyo...

Production beetisse ekyemizannyo mu Vision Group

Nan1 220x290

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde...

OLuyimba lwa tukiggale lutabudde Carol Nantongo ne Racheal Namiiro

Seb2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'ekinzaali okulwanyisa alaje

Kab3 220x290

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa...

Ebyabaddewo ng'aba Poliisi bagobwa mu palamanti

Fub2 220x290

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde...

Entalo ezibadde mu ssomero ery'ayidde e Rakai