TOP

Emmotoka ezifaananya buli kimu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2016

Abakola mmotoka bagezigezi, akyusa erinnya, enzimba y’akayumba naye ng’ebisigadde bifaanagana. amaanyi ga yingini, ennywa y’amafuta, obuwangaazi n’emisinde gye ziddukirako byonna bisigala kye kimu.

Harrier1 703x422

Prado (ku ddyo) ne Toyota Harrier zirina bye zifaananya.

Bya GEORGE BUKENYA

ENNAKU zino abantu tebakyayogera nnyo ku kuvuga kanamba, wabula boogera ku kika. Naye obadde okimanyi nti emmotoka nnyingi zifaananya buli kimu wabula erinnya lye lyawukana?

Abakola mmotoka bagezigezi, akyusa erinnya, enzimba y’akayumba naye ng’ebisigadde bifaanagana. amaanyi ga yingini, ennywa y’amafuta, obuwangaazi n’emisinde gye ziddukirako byonna bisigala kye kimu.

Abantu abasinga bagula mmotoka nga tebategedde bulungi bintu biziriko naye bakoppa bannaabwe abaasooka okugula ekika ekyo.

Geoffrey Maseruka, makanika mu ggalagi emu e Makerere agamba nti ekyawula mmotoka okusinga ebeera yingini n’ebintu ebigiriko nga pisitoni, obuweta bwa pisitoni ne kabyuleeta.

Ayongerako nti omuntu waabulijjo tasobola kuzaawula ng’azitunuulidde butunuulizi kuba ezisinga zifaanana enzimba yaazo.

Ate Ying. Edward Kisekka owa Autonum Engineering Ltd mu Kampala agamba nti mmotoka eziva mu Japan nnyingi ezaawula amannya n’enzimba y’akayumba naye nga zifaanagana ebintu ebiziriko ebisinga.

 rado ku ddyo ne oyota arrier zirina bye zifaananya Prado (ku ddyo) ne Toyota Harrier zirina bye zifaananya.

 

TOYOTA PROBOX NE SUCCEED Zino zaasooka kufuluma mu 2002 ne zikyusibwamu katono, zifaanaganya ebintu ebisinga okugeza obuyumba bwazo bufaanagana, ne yingini amaanyi gaazo tegaawukana.

Za cc1300 ne cc1500. Probox nnyimpi bw’ogigeraageranya ne Succeed ate Succeed yeetikka obuzito bwa kkiro 450 ate Probox yeetikka 400. Zombi zikozesebwa nnyo abasuubuzi aba bizinensi entonotono gamba ng’abaamaduuka.

NOAH NE VOXY Mmotoka zombi zirina bingi bye zifaanaganya, okugeza zirina entebe za mirundi ebiri era zisobola okukyuka ne zeetunuulira, ebiwujjo ebireeta empewo mu biseera by’ebbugumu byeteekako byokka, zirina endabirwamu eyamba abasaabaze okunyumya nga beeraba.

Zombi mpanvu era zeetaaga ekifo ekigaziko okupaakinga. Joseph Ssekite, atunda mmotoka mu kibanda ekimu mu Kampala agamba nti Toyota Noah ne Voxy zaawukana mu kunywa, Noah ya cc1800 ate Voxy ya cc1990, ekirala Noah etundika mangu okusinga ku Voxy kuba nnyangu mu kukanika ate Voxy etera okuwa bamakanika obuzibu.

Amataala ga Noah ag’omu maaso galina akagogo ate Voxy amataala gaayo ag’emabega meeru. Noah modulo enkadde osobola okugigula obukadde nga 24 ate Voxy egula obukadde 26 , Noah modulo 2013 egula obukadde nga 60 ate Voxy 75.

TOYOTA IPSUM NE TOYOTA GAIA Si kyangu kwawula mmotoka zino kuba zifaanagana nnyo naddala obuyumba ne sipeeya gwe zikozesa afaanagana naye Bannayuganda basinze kwettanira Ipsum olw’okuba etundika ssinga oli aba agikooye.

Gaia nfunda munda, kino kitegeeza etwala abasaabaze n’emigugu mitono bw’ogeraageranya ne Ipsum. Kino kiyinza okuba nga kye kigiviirako obutettanirwa ku katale ka Uganda.

TOYOTA CHASER, MARK II NE CRESTA Zino zifaanaganya fuleemu (chassis), engeri gye zaazimbibwa era ne nnamuziga zifaanagana wabula zaawukana mu bintu bitono. Okugeza Cresta yakolebwa nga mmotoka ya famire ate Chaser ya mizannyo era edduka okusinga ku Cresta.

Mark II yakolebwa nga yaakwejalabya, oyinza okugiyita ey’abantu abaagala okweraga. Wabula bw’otunuulira Chaser ne Cresta ne bw’oba tomanyi nnyo bya bidduka osobola okuzaawula kubanga akabina kaazo ka njawulo ate n’amataala g’omu maaso gaawukana. Ate Mark II munda waayo waawukana ku wa Chaser ne Cresta.

NISSAN NAVARA NE MITSUBISHI Zino zifaananya amagulu g’omu maaso naye Navara eggumira ku luguudo okusinga ku Mitsubishi kubanga ngazi era n’emipiira gy’eyambala migazi okusinga ku gya Mitsubishi.

TOYOTA HARRIER NE TOYOTA LEXUS Joseph Mukasa, kitunzi wa mmotoka mu Kampala agamba nti ebika bino bifaanagana kumpi mu buli kimu ekibiriko okuviira ddala ku nzimba y’akayumba ne sipeeya gwe zikozesa y’omu n’omutindo gwe gumu.

Sipeeya gwe zikozesa asobola okwawukanamu katono okusinziira ku modulo. Harrier erina endabirwamu ku mukono ogwa kkono okuliraana boneti ng’ate Lexus tegirina; Harrier erina ebisawo by’empewo binna ate Lexus erina musanvu .

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sib1 220x290

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera;...

Siraje Bakaleke byongedde okumwonoonekera; Adduse mu ggwanga

Cam1 220x290

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa...

Sheikh Obedi Kamulegeya agobeddwa e Kibuli

Cranesweb 220x290

Magogo atwala Cranes mu World Cup...

Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo, aweze nga bw'agenda okukola ekyafaayo ng'atwala Cranes mu World Cup omulundi...

Lwe 220x290

Abadde alondoola abatta mwannyina...

Abadde alondoola abatta mwannyina naye attiddwa mu bukambwe!

Eriksen 220x290

PSG eyingidde olwokaano lw'okugula...

Real Madrid ye yasoose okwesowolayo okugula Eriksen wabula kati ne PSG eyingidde olwokaano.