TOP

Abaagala pamiti bamaze wiiki nga bazisimbira ennyiriri

By Samuel Balagadde

Added 30th June 2016

WIIKI eno baddereeva babadde batambula matumbibudde okugenda ku kitebe kya Face Technologies e Kyambogo okufuna pamiti empya ng’ebisale byazo tebinnalinnya nga July 1.

Simba 703x422

Ennyiriri ezaasimbiddwa okufuna pamiti.

WIIKI eno baddereeva babadde batambula matumbibudde okugenda ku kitebe kya  Face Technologies  e Kyambogo okufuna pamiti empya ng’ebisale byazo tebinnalinnya nga July 1.

Omujjuzo  tegukomye Kyambogo mu Kampala  mwokka wabula guzingidddemu  n'amatabi ga kkampuni eno amalala omuli e Fort Portal, Mbarara, Mbale n’e Gulu.

Kino kyawalirizza kkampuni eno okuggalawo ssaawa  4:00  ez'ekiro  buli lunaku! Omukungu mu kitongole kino ataayagadde kumwatuukiriza yagambye nti ku Mmande lwokka  aba Face Technologies baakoze ku pamiti 2,600 okuva ku pamiti 500 ze babadde bakolako  buli lunaku mu nnaku eza bulijjo.

Omujjuzo ku ofiisi zaabwe gwabawalirizza n’okufuna ambyulensi ey'okutwala abayinza okuzirika nga bali mu nnyiriri, baatandise  okugaba amazzi ku bwereere n’okukozesa empuliziganya  ey’obuzindaalo.

Kino kiddiridde   Gavumenti okulangirira  okwongezebwa kw'ebisale bya  pamiti mu bajeti y’omwaka 2016/2017 okuva nga July 1.

Pamiti  ey'emyaka  esatu , ssente za URA zaalinyisibwa okuva mu 66,000/- okutuuka ku 150,000/- ate okuzizza obuggya ne ziva ku 56,000/- okudda ku 130,000/-.

Gavumenti yassaawo pamiti ey'emyaka etaano etebaddeewo n'egissa ku 250,000/- ate okugizza obuggya n’egissa ku 200,000/-.

Winstone Katushabe,  omuwandiisi w'ekitongole ekivunanyizibwa ku bidduka ne pamiti ekya Transport Licensing Board (TLB)  yagambye nti  balinze kiwandiiko okuva mu minisitule y'ebyensimbi ekikasa  ssente entuufu ezigenda okusasulibwa ku pamiti  nti bo bakyatunuulira  ezo enkadde ezikyagenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...