TOP

Yiino bbaasi esobola okumalawo akalippagano k'ebidduka mu Kampala

By Edward Sserinnya

Added 3rd August 2016

Abachina akalippagano k'ebidduka bakanogedde eddala bwe bagezesezza bbaasi eringa ettaawo nga mmotoka ziyita wansi waayo kyokka nga bakozesa oluguudo lumu!

China 703x422

Bbaasi eyazimbiddwa Abachina ng'egezesebwa ku nguudo z'ekibuga Qinhuangdao e China

AKALIPPAGANO k’ebidduka kabobbya bangi omutwe mu Uganda naddala abo abatera okuyitako mu Kampala.

Abachina akalippagano bakasalidde amagezi oluvannyuma lw'okuzimba bbaasi eringa ettaawo nga mmotoka ziyita wansi waayo kyokka nga bakozesa oluguudo lumu!

Kubamu akafaananyi ku kalippagano akakwatirira ku luguudo lwa Jinja, Ntebe, Bwaise n’enguudo endala, nga bbaasi eno etuuse mu Uganda ng’obumotoka mu buyita waggulu ne mugenda.

The idea is that passengers sit far above other vehicles on the road, allowing cars to pass underneath.

Bbaasi eno gye batuumye ‘Transit Elevated Bus (TEB), baagigezesezza ku nguudo z’omu kibuga Qinhuangdao, okulaba enkola yaayo n’engeri gy’esibamu.

Ekozesa masannyalaze nga bw'olaba mmotoka zino empya ez’ogerwako ez’amasannyalaze.

The TEB has already attracted interest from governments in Brazil, France, India and Indonesia, it has been claimed.

Eriko obugazi bwa fuuti 25 n’obuwanvu bwa fuuti 72, kino kitegeeeza esobola n’okuyita waggulu wa tuleera.

Etikka abasaabaze 300, kyokka kisuubirwa okukolayo ezitikka omuwendo ogusinga ku guno.

Etambula mayiro 40 buli ssaawa ekitegeeza nti yetaaga essaawa bbiri zokka okuva e Kampala okutuuka e Masaka.

The 22-meter-long, 7.8-meter-wide and 4.8-meter-high TEB-1 can carry up to 300 passengers over the top of cars and let traffic pass underneath it.

Ensi okuli Brazil, France, India, Indonesia n’endala nazo zeegombye tekinologiya wa China ono.

Tomanya ne Uganda, mu kifo ky’obumotoka bw’amasannyalaze abavunaanyizibwa bayinza okwekyusa ne baleetamu zino nga 4 okunogera akalippagano k’ebidduka amagezi naddala singa zinaaba zitongozeddwa. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muserikale 220x290

Omuserikale wa poliisi gwe baakutte...

EDDOBOOZI lya Gideon Mbirire eryesembyeyo okuwulirwa lyabadde nti ‘temunzita eby’emmundu sibimanyi’. Kyokka bakira...

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63