TOP

Okukebera ebidduka okw’obuwaze kutandise

By Samuel Balagadde

Added 1st September 2016

KKAMPUNI ya SGS eyapatanibwa Gavumenti okwekebejja ebidduka byonna mu ggwanga mu nkola ey'obuwaze eya buli mwaka etandise okukola.

Lwana1 703x422

Mmotoka ezikyali mu bondi nga tezinnassibwako nnamba aba SGS nazo baakuzeekebejja.

KKAMPUNI ya SGS eyapatanibwa Gavumenti okwekebejja ebidduka byonna mu ggwanga mu nkola ey'obuwaze eya buli mwaka etandise okukola.

Basookedde ku bidduka ebisaabaza abantu ebyeyambisa layisinsi ya PSV nga muno mulimu bbaasi, takisi, sipensulo ne pikipiki ezikola omulimu gwa bodaboda ssaako n'ebidduka ebikadde ebiyingibwa mu ggwanga nga tebinnassibwako nnamba.

Ebidduka ebirina PSV bigenda kusooka kugenda Matugga ku kifo ekyakaggwa kw’ebyo ebiri mu kuzimbibwa kkampuni ya SGS omugenda okwekebejjebwa ebidduka wabula nga mmotoma eziyingizbwa mu ggwanga zigenda kukolebwako ebyuma ebitambulizibwa ku mmotoka.

Ronald Amanyire, omuwandiisi w'akakiiko akalwanyisa obubenje mu ggwanga mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula yagambye nti buli kidduka ekirina okufuna layisinsi ya PSV oba PMO kirina okuba nga kimaze okwekebejjebwa ne kikakasibwa nga kisaanidde okubeera ku luguudo.

Yagambye nti kino bakikoze ku ntandikwa wabula buli kidduka kyonna okukkiriziabwa okutambula ku nguudo z'eggwanga kiteekwa okuba nga kimaze okukakasibwa era ne kiweebwa sitiika essibwa waggulu ku ndabirwamu y’omu maaso.

Winston Katushabe, omuwandiisi w'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka ebisaabaza abantu mu ggwanga ekya Transport Licensing Board (TLB) yagambye nti enkola eno si mpya mu Uganda wadde nga yali yadibizibwa emyaka egisukka ku 15 emabega nga kaali kakwakkulizo eri abo abaali bagenda okufuna layisinsi z'ebidduka eza buli Okukebera ebidduka okw’obuwaze kutandise mwaka wabula ne ziggyibwawo .

Yagambye enjawulo eriwo eri nti enkola eno yali mu mikono gya poliisi y'ebidduka wabula kati yakyusibwa kontulakiti n’eweebwa kkampuni ya SGS oluvannyuma lw'okuyita mu kasengejja n'okuvuganya n'amakampuni amalala.

Yagambye nti egendereddwaamu okumalawo ebidduka biganyegenya ku nguudo nga bye bimu ku bisinze okuvaako obubenje omutokomokera abantu buli lukya.

EBISSIBWAKO ESSIRA

Mmotoka erina okuba ne kkaadi eri oligino.

Kkaadi by’esoma ekidduka bye kirina okusoma omuli nnamba ya yingini, Chassis, langi, nnamba ppuleeti, sayizi y'emipiira, emitto, erina okubaamu ne kalonda omulala.

Mmotoka erina okubeera ennamu, ng’esiba, mu maaso gaayo nga wagumu bulungi, empiira nga giriko enjola munda waazo nga ziweza mirimita 1.6, emipiira girina okuba nga gya kika kimu, nga girimu omukka nga gwenkanankana mu maso n'emabega.

Ekidduka ekinaasangibwa nga kiriko ebintu ebitakwatagana, nnannyini kyo ajja kuweebwa omukisa okubitereeza nga muzingiramu n'ebyo ebyetaagisa okugonjoola mu kitongole kya URA ssaako n'ebyetaagisa poliisi, Ssente ezigenda okusasulibwa mu kwekebejja ebidduka mulimu:

Pikipiki omuli ne bodaboda 46,000/-

Mmotoka za buyonjo 93,400/-

Mmotoka ezisaabaza abantu okutuuka ku 20 103,000/- Mmotoka ezisaabaza bantu okuva ku 20 okutuuku ku 60 50,000/-

Bbaasi okuva ku basaabaze 60 okudda waggulu 8,000/-

Mmotoka z'emigugu okutuuka ku ttani 3.5 83,000/

Mmotoka z'emigugu okuva ku ttani 3.5 okutuuka ku 10 125,000/- Mmotoka z'ebyamaguzi ezisussa mu ttani 10 okudda waggulu 50,000/-

Lukulana eza Akizolo ebbiri 160,000/-

Buli Akizolo eyeeyongerako 800/- Katushabe yagambye nti ekiseera eky’oyamba abalina ebidduka okwetereeza nakyo kijja kuggwaako bakwate bikwate.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...