TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Enkyukakyuka ezireeteddwa mu nnamba ppuleeti z’ebidduka

Enkyukakyuka ezireeteddwa mu nnamba ppuleeti z’ebidduka

By Musasi wa Bukedde

Added 15th September 2016

WALI weebuuzizza lwaki ebidduka ebimu tebiba na nnamba ppuleeti za mu maaso? Ezisinga bannannyini zo baba nazo nga baasalawo okuziggyako ne bazissa mu bbuutu olw’ebyokwerinda naye nga poliisi bw’ebakwata baziggyayo ne bazissaako!

Yongerako 703x422

Okuggya nnamba ppuleeti ku mmotoka musango ogukusibya.

WALI weebuuzizza lwaki ebidduka ebimu tebiba na nnamba ppuleeti za mu maaso? Ezisinga bannannyini zo baba nazo nga baasalawo okuziggyako ne bazissa mu bbuutu olw’ebyokwerinda naye nga poliisi bw’ebakwata baziggyayo ne bazissaako!

Kino bakitandika nga malala wabula ebiseera ebimu ekiddirira kuba kweyambisa bidduka bino mu bumenyi bw'amateeka.

Okuva mu 1938 nnamba za mmotoka lwe zaatandika okugabibwa mu Uganda, nnamba zino zizze zikyuka.

Kharim Kibuuka omukugu mu kwekebejja ebidduka mu minisitule y'ebyenguudo n'entambula agamba nti kimenya mateeka okuvuga ekidduka nga tekirina nnamba bbiri nga bwe kiragibwa mu mateeka , Agamba nti nnamba za mmotoka zirina okussibwa mu kifo we zirabikira obulungi ate nga si nkulubufu ng'omuntu yenna asobola okuzirengera obulungi.

Norman Musinga, omuduumizi wa poliisi y'ebidduka mu Kampala n’emiriraano agamba nti omuze gw'okuggyako nnamba ku bidduka naddala mu Kampala gweyongedde era batandise ebikwekweto okufuuza abo abakikola.

Agamba nti kimenya mateeka omuntu okuddamu okuziyisaamu langi enzirugavu okusobola okuzikwasa ng’abamu bwe bakola.

Ebivaako nnamba okusiiwuuka

Baddereeva ba takisi bagamba nti nnamba ppuleeti zisiiwuuka kubanga abattulafiki bazitema ku mmotoka ne bazikasuka mu sitoowa zaabwe ne zeekulubula. Moses Mukasa, ddereeva ku lw'e Ntebe agamba nti abattulafiki babakwata buli kiseera olwa nnamba zino okuba nga zaasiiwuuka.

Agamba nti Gavumenti yandyongedde okulondoola amakampuni agakola nnamba zino galongoose ku mutindo.

Okufuna nnamba puleeti

Ossaayo okusaba kwo mu kitongole kya URA era n'osasula ssente 49,000/- Oluvannyuma oddamu okusasula 137,000/- eri kkampuni ezaapatanibwa okukola nnamba ppuleeti okuli eya TUMPECO ne Arnold Brooklyn wabula nga pikipiki zo zisasula 84,000/-.

Nnamba ppuleeti ezaabula oba emu ku zo olina okusooka okulanga mu mpapula z'amawulire oluvannyuma n'okola obuwandiike ku poliisi ku ngeri nnamba zino gye zaabulamu olwo n’oyita mu mitendera.

Mmotoka oba pikipiki bw’esuula nnamba ppuleeti ng'eriko nnamba enkadde ez'ebifo omukaaga okugeza UCB 134 eba erina kuddamu kuwandiisibwa n'efuna obulamba obutono obw'ebifo omusanvu okugeza UAD 345L.

Pikipiki zitandise okuweebwa nnamba ppuleeti bbiri.

Oluvannyuma lw'okukola okunoonyereza wakati wa poliisi ne minisitule y'ebyenguudo n'entambula kyazuulibwa nti pikikipi naddala eza bodaboda okubeera ne nnamba ppuleeti emu ey'emabega eba temala kuba eba terabibwa oyo aba agiri mu maaso.

Alex Okello, omuwandiisi w'enkalakkalira mu minisitule y'ebyenguudo yalangiridde nti pikipiki zaakutandika okuweebwa nnamba ppuleeti bbiti omwezi gumu era kyatandise nga September 1.

Kino kitegeeza nti pikpiki zonna zirina okuzzibwayo ziwandiisibwe buto, ziweebwe nnamba ppuleeti bbiri oluvannyuma lw'okuwaayo eyo emu.

Mu lukiiko olw'enjawulo wakati w'amakampuni agakola nnamba ppuleeti, ekitongole kya URA ne minisitule y'ebyenguudo n'entambula olwatudde ku Port Bell mu Kampala wiiki ewedde kyasaliddwaawo pikipiki zonna ziddemu zeekebejjebwe.

Okugaba nnamba ebbiri kugenda kweyambisibwa okuzuula ezo ebibadde zaayingibwa mu ggwanga mu bukyamu ne zissibwako nnamba ezitaali zaazo.

Winstone Katushabe, omuwandiisi wa TLB agamba nti pikipiki okuba ne nnamba ppuleeti ebbiri si kipya mu byafaayo bya Uganda kuba ku ntandikwa bwe zaasooka okuba nazo.

Ebika bya nnamba za mmotoka

lMulimu ez'obwannannyini (Private) nga zino ziba ku kabaati aka kyevu n'ennukuta enzirugavu.

lEza Gavumenti ziba mu nnukuta mmyuufu. lNnamba z'ebitongole bya Gavumenti ziba za bbululu.

lNnamba eziweebwa mmotoka za Bannayuganda ze baba bavudde nazo ebweru nga babadde nazo okumala ebbanga eriweza omwaka gumu zibeera njeru ku kabaati akamyufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.