TOP

Abakugu balaze ebivaako enguudo okufa buli kiseera

By Kizito Musoke

Added 6th April 2017

ABAVUNAANYIZIBWA ku byenguudo mu disitulikiti basonze ku bizibu ebivuddeko amakubo okubeera mu mbeera embi ne basaba Gavumenti okubikolako.

Nguudo1 703x422

Bya KIZITO MUSOKE  

ABAVUNAANYIZIBWA ku byenguudo mu disitulikiti basonze ku bizibu  ebivuddeko amakubo okubeera mu mbeera embi ne basaba Gavumenti okubikolako.

Michael Odongo, akulira ekitongole kya Road Fund yategeezezza nti ssente entono eziteekebwa mu byenguudo, ate nga buli mwaka Gavumenti etondawo gavumenti z’ebitundu empya.

Yategeezezza nti mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2016/17 distulikiti zeeyongera okuva ku 112 ne ziwera 116.

Abaddukanya amagombolola, munisipaali ne disitulikiti baavumiriddwa olw’okulemwa okukozesa ssente eziba zibaweereddwa.

Kyategeezeddwa nti ssente eziwera ebitundu 50 ku buli 100 ziddayo mu ggwanika olw’obutakozesebwa mu kiseera, wadde ng’abantu basigala amakubo gali mu mbeera mbi.

Dunstan Balaba, akulira abakozi mu disitulikiti y’e Bundibugyo yategeezezza nti ebifo gye bakanikira ebyuma ebirima enguudo bwe bifa bimalayo kumpi omwaka mulamba nga bakyakanika.

Kino kye kimu ku bibagaana okukozesa ssente eziba zibaweerezeddwa.

Tulakita zennyini eziweerezebwa mu disitulikiti tezirina baddereeva bakugu mu kuzikozesa.

Beesanga nga bamala gafuna bantu, olumu abazikwata obubi ne zitasobola kuwangaala.

Ebyuma ebirima enguudo  ebisinga biggyibwa mu China, bye bagamba nti tebitera kuwangaala.

Baagala bimale kwekenneenyezebwa nga tebannaddamu kugula birala.

Ssente zennyini Gavumenti z’eweereza mu disitulikiti ntono nnyo naddala mu bitundu ebirimu ensozi, emigga ne ku bizinga. Baagala ebitundu bino biweebwemu enkizo.

Minisita w’ebyenguudo, Monica Azuba Ntege yasabye gavumenti z’ebitundu okulwanyisa omuze gw’okulya enguzi mu kukola enguudo.

Yagambye nti bangi abaweebwa emirimu bagikola gadibengalye, kuba agandibadde amagoba babeera baagawaayo mu kugulirira.

Kyokka minisita yategeezezza nga Gavumenti bwe yatumizza ebyuma ebipya ebirima enguudo era nga bituuka mwezi guno mu ggwanga.

Buli disitulikiti egenda kufuna ebyuma ebirima enguudo. Ku kya ssente entono eziweerezebwa, yagambye nti mu kiseera kino ebyenguudo Gavumenti by’esinga okuteekamu ssente.

N’ategeeza nti baakwongera okuzongerako buli mwaka. Azuba yasabye abakulembeze  ba gavumenti z’ebitundu okutandikawo enkola ya bulungibwansi mu bitundu  gye bava.

Kino yagambye nti kyakuyamba okukola ku bizibu ebitono ebimu ebibeera ku nguudo.

Bano baasinzidde ku musomo gw’ebyenguudo ogwabadde ku Hotel Africana mu Kampala wiiki ewedde. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...