TOP

Munnayuganda akoze mmotoka eyookubiri

By Moses Lemisa

Added 1st June 2017

MOSES KAYIIRA, makanika eyakola mmotoka gye yatuuma Uganda 1 eyatongozebwa Kabaka ku Lubiri mu July wa 2012 akoze emmotoka endala gy’atuumye Uganda 2.

Moto1 703x422

Emmotoka ya Kayiira mu maaso bw’efaanana.

MOSES KAYIIRA, makanika eyakola mmotoka gye yatuuma Uganda 1 eyatongozebwa Kabaka ku Lubiri mu July wa 2012 akoze emmotoka endala gy’atuumye Uganda 2.

Mmotoka eno Uganda 2 yaakutongozebwa mu September w’omwaka guno.

Kayiira ye nnannyini ggalagi ya Bakayiira Diesel Garage era addamu ebibuuzo bya Bukedde ebikwatagana n’eby’okukanika mmotoka.

Yasooka n’akola mmotoka eyasanyusa abantu omwali ne Kabaka. Uganda 1 yatandika okugikola mu 2008.

Kayiira ekirooto kye kyali kyakusisinkana Pulezidenti Museveni amulage mmotoka ye UGANDA 1 ekoleddwa Munnayuganda kyokka tekyasobooka olw’okubulwa omuntu omutuufu amutuusaayo, kati yafunye amagezi amalala agakola mmotoka endala ng’eno yagitandikako ku ntandikwa ya 2016 ng’eno eyawukana n’eyasooka.

 mmotoka ya ayiira bwefaanana Emmotoka ya Kayiira bw’efaanana.

Kayiira yagambye nti okukola mmotoka eyasooka, yagitandika mu 2008 ng’amaze okuva mu ttendekero lya Blackburn College mu Bungereza erisomesa okukola mmotoka ng’eno gye yaggya amagezi. “Mu kiseera kino Uganda 2 ebulako ebintu bitono etandike okutambulira ku nguudo za Uganda.

Ntegese omukolo okugitongoza nga September 30 ku Hotel Africana,” bwe yagambye.

Kayiira yayitiddwa mu lukuηηaana lwa UNAA olugatta Bannayuganda abali mu bukiikakkono bwa Amerika, olugenda okubaawo wakati wa September 1-3 mu kibuga Miami ekiri mu ssaza ly’e Florida.

Lugenda kwetabwamu Bannayuganda okuva mu nsi ez’enjawulo nga luno Kayiira yayitiddwa nga Munnayuganda omuyiiya asobole okubaako by’akubaganyako ebiroowozo ebisobola okuzimba Uganda.

“Emmotoka ηηenda kusooka kugitongoleza mu lukuηηaana lwa UNAA.

Okutongoza emmotoka eno mu Uganda kikyetaagisaamu abankwata ku mukono omukolo gwange gubeere gwa kitiibwa,” bwe yagambye.

EBIRI MU MMOTOKA ENO

Kayiira agamba nti emmotoka eno ya ggiya, sipiidimmita ekoma ku 160 , ekozesa amafuta ga petulooli, ya CC 1,600.

 ttaala lyemmotoka eyakoleddwa ayiira Ettaala ly'emmotoka eyakoleddwa Kayiira

Ttanka yaayo ya liita 65, ekozesa amasannyalaze ga Volt 12. Buli kiromita 20 enywa liita y’amafuta ng’okuva e Kampala okutuuka e Ntebe enywa liita bbiri, eyambala emipiira sayizi 16.

Mu maaso watuulayo abantu babiri n’emabega waayo, erina GPS akuuma akalagirira ekifo w’eri akayambako naddala ssinga baba bagibbye.

Erina leediyo, ekyuma ekiwujja empewo (AC ), bw’eba erina ky’efudde nga kya masannyalaze osobola okukozesa kompyuta okuzuula ekirwadde, etuulako bbaatule ya N50.

Esikira mu maaso ekigiyamba okutambulira ku nguudo za Uganda ezijjudde ebinnya n’obuseerezi , Kayiira agamba nti ssinga afuna Gavumenti emukwatirako alina obusobozi obutendeka abavubuka okuyiga okukanika n’okukola mmotoka naye ekizibu talina ssente nga n’abavubuka b’atendeka tebalina bikozesebwa bya mutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?