TOP
  • Home
  • Jjajja
  • Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2017

Engeri gy’ofuuka makanika wa mmotoka yo

Tr2 703x422

Mmotoka ng’eyabise omupiira oba guweddemu omukka osobola okugukyusa.

GGWE ddereeva wali okirowoozezzaako nti osobola okubeera makanika wa mmotoka yo?

Omwami omu yavudde awaka ng’amaze okuteeka amazzi mu ladiyeeta wabula ne yeerabira okuzzaako ekisaanikira n’avuga. Atuuka mu kkubo nga mmotoka yeecanga ng’ezikira.

Ekyamujjidde amangu kukuba masimu anoonye makanika. Olwokuba makanika aludde naye era mukwano gwe, yamugambye akebere oba mu ladiyeeta mulimu amazzi kigenda okuzuuka nga teyasaanikirako era amazzi gaali gaweddemu. Embeera bweti n’endala ggwe ddereeva osobola okugyekolerako n’ototawaana kuyita makanika. Kyokka si kyangu kwekanikira mmotoka naddala ng’obadde tokikolangako.

Kiba kirungi okubeerako n’ebintu ebitonotono ebyangu by’osobola okwekanikira mu mbeera y’ebyenfuna eno eyeekanamye kikuyambe okukekkereza ku ssente ze wandisaasaanyirizza mu bamakanika. Deborah Kabonero e Kabowa agamba: Omupiira gwa mmotoka yange gwayabika bwe nali hhenda e Mifunya oluvanyuma lw’okulinnya ku kikonge.

Omukka gwagenda guggwaamu mpola nga simanyi hhenda okuwulira ekipupula kwe kusiba ndabe ogubadde naye nga ndi wakati mu masahhanzira. Nakanda kukuba masimu nga sifuna buyambi kwe kufuna boda ne hhenda mu katawuni akaliraanye ne nfuna makanika.

Agenda okujjayaggyayo gwa sipeeya n’ebyuma ebyali mu mmotoka eyange yennyini n’agussaako naye nafuna ekyokuyiga”. Lawrence Katongole Kiwanuka makanika wa mmotoka ku Shell South Street agamba: Ddereeva yenna nga tonnava waka sooka okebera ku mazzi ga ladiyeeta y’emmotoka yo okulaba oba mwegali, amazzi gano galina okuba nga gajjudde bulungi okutuuka ku mumwa gwayo. Oyinza okubeerako gye wayise ejjinja ne ligikuba n’ejjako ekituli nga tomanyi, amazzi ne gayiika ekiviirako yingini okucamuka n’okutta ebintu ebirala.

Woyiro: Olina okuyiga okweteekera woyiro mu mmotoka kuba ebiseera ebisinga bw’aggwaamu, yingini yeesiba ekivaako mmotoka okuzikira ekiyinza okuleeta akabenje. Ne bw’oba wakimanyiira nti mmotoka yo tenywa nnyo woyiro, ngatonnagissaamu kisumuluzo, sooka okebere ku kipimo ky’asigaddemu kuba kiyinzika okuba nga waliwo omusumaali ogwasumulukuse ne gugwa n’ayiika n’aggwaamu. Teweerabira kukebera ne ku woyiro wa siteeringi.

Ono bwagwaamu, mmotoka eba ekaluba. Mu mbeera eno , olina okumukeberako buli ku makya nga tonnasimbula. Brake fluid oba muyite woyiro w’ebiziyiza naye tolinda kuzza mmotoka wa makanika okumukukeberako kuba naawe osobola okukyekolera. Kubanga obupiira obutambuza woyiro ono okusobozesa okusiba n’okukola obulungi buyinza okwabika n’ayiika n’aggwaamu ekireetera ebiziyiza okukaluba. Bbaatule: Nnyini mmotoka kikwetaagisa okuba nga gwe weeteekera amazzi mu bbaatule ya mmotoka.

Bw’ova okukola mmotoka yo saaviisi, bakebera amazzi agagirimu naye ebbanga lye bakuweerako okugizzaayo ddene. Mu mbeera eno, gwe kennyini olinaokukebera ku mazzi ga bbaatule n’ogongeramu okwewala okufa. Amataala: Buli ku makya, sooka oteekeko amataala g’emmotoka naddala ag’omu maaso okukakasa oba gaaka bulungi. Bwe kubaako eryonoonese, osobola okufuna omukugu nakuyigiriza bwe bagazzaamu oleme kwonoonera ssente mu kugakanika.

Ekyangwe: Eno y’ennyindo y’emmotoka yo wabula kiyingiramu nnyo enfuufu ekiyinza okukiviirako okuzibikira. Kino bwe kibaawo ennyindo eba tessa bulungi n’ekiddirira kunywa mafuta mangi. Mu mbeera eno, osobola okukisumululako n’okikoonakoona wansi okuggyamu ebicaafu. Ng’oyagala kubeera makanika wa mmotoka yo, tandika mpola nga weekanikira ebintu ebyangu naddala nga weekakasa ekikyamu ekiba kigituuseeko. Oluusi osobola okusoma mu katabo k’emmotoka yo oba okufunayo omusomo ku bintu ebisookerwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa