TOP
 • Home
 • Amawulire
 • Poliisi ebaze amateeka amakakali ku bavuzi b'ebidduka mu Kampala

Poliisi ebaze amateeka amakakali ku bavuzi b'ebidduka mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 30th March 2018

POLIISI y’ebidduka ng'ekulembeddwaamu aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala, Norman Musinga ekoze amateeka amapya ku bavuzi b'ebidduka bonna mu kampala mu kaweefube okukendeeza ku kalipaggano k'ebidduka mu kibuga.

Kcca 703x422

Akulira okukwasisa amateeka mu KCCA, Rusoke Katumwa ku ddyo. Ku kkono ye Norman Musinga akulira poliisi y'ebidduka mu Kampala South nga basomesa ab'ebidduka amateeka amapya.

BYA LAWRENCE MUKASA

Musinga bino abyogerede mu lukiiko lw'abavuzi b'ebidduka, abakulembeze be bitundu mu kampala LCS, banannyini bizimbe n'abasirikale ba tulafiki abakola mu Kampala olubadde ku City hall mu Kampala nga lukubirizibwa aduumira abasirikale ba KCCA Enforcement, Rusoke Kitumwa.

Kitumwa yategezeza nti batudde ne poliisi y'ebiduka ne bakola amateeka gano n'ekigendererwa ky'okumalawo akalippagano k'ebidduka mu kibuga saako n'okukangavvula abo abatagobera mateeka ga nguudo.

Ono yategeezezza nti baakukolera wamu ne poliis era nasaba abavuzi b'ebidduka bonna okuba abeegendereza nga bavugira mu kibuga Kampala.

Mumateeka agaasomedwa mulimu;

 • Teri kutikka na kutikkula bya maguzi nga temulina bukuumi bumala.
 • Teri siteegi ya bidduka ekkirizibwa mu kkubo.
 • Teri muntu akkirizibwa kusuza kidduka kyonna nga ku kkubo wade nga kifudde okuggyako ng'afunye olukusa okuva mu KCCA ne poliisi.
 • Teri muvuzi wa kidduka akkirizibwa kusimba kidduka kye kyonna mu kkubo wakati.
 • Teri kusimba ku nguudo za kibuga nga totikka oba nga totikkula byamaguzi byonna.
 • Obutadamu kuttikulira ku kizimbe kyamuntu nga tomutegeezezza era olina okufuna olukusa okuva mu KCCA ne poliisi y'ebidduka.
 • Tewali muvuzi wa kidduka yenna akkirizibwa kusimba wakati mu luguudo ng'atikka oba ng'atikkula ebyamaguzi oba abasabaze.
 • Teri muvuzi wa kidduka yenna akkirirzibwa kuvugira ku luguudo oluyisa emmotoka nga zidda ku ludda lumu [one way]
 • Teri muvuzi akkirizibwa kusimba mmotoka oba ekidduka kyonna erudda n'erudda n'aziba ekkubo [double parking].
 • Teri kuddamu kutundira tiketi z'abasabaze ku nguudo.
 • Tokkirizibwa kuziba kkubo oba okulemesa abalala abakozesa ekkubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono