TOP

Baleese emmotoka enkadde 100 mu mwoleso

By Samuel Balagadde

Added 25th July 2018

MMOTOKA enkadde eziwera 20 okuva e Kenya, Tanzania ne Rwanda zimaze okukakasibwa nti, zigenda kwegatta ku za Bannayuganda eziwera 80 mu mwoleso gwa mmotoka enkadde ogw'okubeera ku Sheraton Hotel mu Kampala ku Lwomukaaga luno.

Teekawo 703x422

Citroen eno yakolebwa mu 1951 nga kati ewezezza emyaka 67.

Omwoleso guno gwe gusoose okubeeramu emmotoka ennyingi okuva wano mu Uganda ne mu mawanga ag'omuliraano era nga gugenda kubeerako n'okwolesa ebintu ebikadde ebyaliwo mu myaka egisoba mu 50.

Ku mwoleso gwe gumu kugenda kubeerako n'okusanyusibwa n'ennyambala, ennyimba n'amazina ebyaliwo mu myaka gy’edda.

Dr. John Niwagaba ssentebe w'omwoleso guno ogutuumiddwa Commercial Bank of Africa (CBA) Vintage and Classic Auto Show yagambye nti, abagenda okugwetabako bagenda kufunamu kubanga mmotoka ezigenda okwolesebwa zibadde tezirabwangako.

Yagambye mu mwoleso guno mugenda kubeeramu ne pikipiki enkola enkadde ssako n'okuwa abantu omukisa okumanya enkyukakyuka ezibadde zibeerawo mu bidduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...