TOP

Obulabe bw’ebbugumu n’enfuufu ku mmotoka yo

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

Endabirira ya mmotoka yo ekuwonya okwatika endabirwaamu olw’omusana

Carcovers3webmotorcover 703x422

Mmotoka ebikkiddwa ereme okwokebwa omusana

Bya Stella Naigino

Omusana buli lwe gwaka ennyo, abavuzi b’ebidduka babeera beeraliikirivu olw’ebyo bye bayitamu mu kiseera kino. Abasinga beeraliikirira wa gye basobola okusa mmotoka zaabwe zireme kutuukako musana.

Ronald Buwembo, avuga mmotoka ekika kya Ipsum eri mu langi enzirugavu agamba nti ye mmotoka ye eyonoonebwa nnyo omusana langi yaayo esiiwuuka olwo ng’okwewala kino alina okugisimba mu kisiikirize.

Description: uwembo ngalaga mmotoka ye eya langi enzirugavu esiiwuuka bwogireka mu musanaBuwembo ng'alaga mmotoka ye eya langi enzirugavu esiiwuuka bw'ogireka mu musana

 

Wabula abakugu bagamba nti, abavuzi b’ebidduka balina okubeera abeegendereza ennyo ku ngeri gye balabiriramu mmotoka zaabwe kubeere kwa musana oba kiseera kya nkuba.

Annet Kasozi, makanika agamba nti obuzibu omusana, ebbugumu n’enfuufu bwe bituusa ku mmotoka bwe buno:

1. Endabirwamu zifuna enjatika

Omusana gwonoona endabirwamu z’amadirisa naddala ey’omu maaso kubanga omusana gugibugumya n’eyatika. Ayongerako nti, ate ebbugumu lino bwe lisanga endabirwamu y’emmotoka yo ng’erina olwatika, lweyongera okugaziwa era ssinga oba olina okuteekamu ssente okutereeza awaba woonoonese.

Kasozi akubiriza abavuzi b’ebidduka okubikka mmotoka zaabwe n’akaveera okuzitaasa okwonoonebwa omusana.

2. Obusiba enzigi z’emmotoka zoonooneka

Tom Ongom nga makanika agamba nti, omusana bwe gwaka enfuufu nayo ebeera nnyingi era eno buli lw’eyingira mmotoka etuula mu bifo bingi ng’ebimu kw’ebwo bye bifo ebibeeramu woyiro. Omusana bwe gumwakako, woyiro oyo yeegatta n’enfuufu n’akakanyala ekitaataaganya obusiba enzigi nga kikwetaagisa okussaamu obulala mmotoka okwesiba.

3. Emipiira olumu gibuguma ne gyabika

Saleem Merasa, ng’ono akola mu mipiira gya mmotoka annyonnyola nti emipiira gy’emmotoka gikolebwa mu masanda ne waya za ‘steel’ era buli omusana lwe gwaka ennyo, amasanda gabuguma ne galeeguuka omupiira ne gufuna enjatika n’ekivaamu kwabika.

 

 

Description:  ndabirwaamu yemmotoka eyatise Endabirwaamu y'emmotoka eyatise

 4. Endabirwamu y’akadirisa akabeera waggulu w’emmotoka ezimu nazo zijjula enfuufu ne zoonooneka.

Yasin Mwanje, nga naye makanika annyonnyola nti endabirwamu y’akadirisa akabeera waggulu w’emmotoka akayingiza empewo n’ekitangaala omusana bwe gwaka ne kayingiza enfuufu kivaako okwesiba ne katakola mulimu gwako bulungi.

Kino kigireetera okuyisa amazzi olw’okuba erina olupiira olubeeramu amazzi agagikuuma ng’ekola bulungi, era enfuufu olugiyingira ng’amazzi gano gatandika okutonnya munda mu mmotoka era nga kino kiba kyetaagisa okugirongoosa.

Ongom annyonnyola nti, bw’oba osimba mmotoka yo mu musana endabirwamu zo zisibe wabula oleke akabanga akatono waggulu olwo okwataganye ebbugumu ery’omu nda n’ery’ebweru.

5. Amadirisa g’emmotoka gakwata enfuufu ne gagaana okweggula.

Mwanje, agamba nti abantu abalwawo okukola mmotoka zaabwe saaviisi kino bakimanyi. Enfuufu buli lw’eyingira mmotoka, etuula mu madirisa nga bw’otogiggyaamu kireetera amadirisa g’emmotoka okwekwata ne gagaana okweggula.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...