TOP
  • Home
  • Agafa ku bidduka
  • UNRA emalirizza enteekateeka z'okuzimba oluguudo lwa Kampala- Jinja Express way

UNRA emalirizza enteekateeka z'okuzimba oluguudo lwa Kampala- Jinja Express way

By Stuart Yiga

Added 4th September 2018

EKITONGOLE ky’ebyenguudo ekya ‘Uganda National Roads Authority’ (UNRA), kitandise enteekateeka z’okuzimba oluguudo lwa Kampala- Jinja Express way.

Engerioluguudolwakampalajinjaexpresswaygyerugendaokufaananamu2 703x422

Akulira ekitongole kino Allen Kagina, agamba nti kampuni engundiivu munaana zeezakassaayo okusaba kwazo nga zaagala  ziweebwe kontulakiti ya pulojekiti eno.

Kagina eyasinzidde ku kitebe kya UNRA e Kyambogo, ku Mmande, yagasseeko nti, ezimu ku kkampuni ezitaddeyo okusaba kuliko eya China Communications Construction Company Limited, China First Highway Engineering Company, KJ Connect, STRABAG, ne Enkula Expressway Consortium.

Ayongerako nti, oluguudo luno lugenda kutandikira  ku bitaala bya Lugogo by pass, nga lulimu enguudo munaana nga ziriko obuwanvu bwa kiromita 95, nga lwakuwemmenta akawumbi ka doola kamu.

Kagina annyonnyola nti, pulojekiti y’oluguudo luno egenda kuvvuggirirwa ekibiina ky’ensi za Bulaaya ekya ‘European Union’ wamu ne bbanka y’enkulaakulana eya  Africa Development Bank, nga wonna awamu awamu bagenda kuteekamu obuwumbi 400, ssonga yo kampuni enaweebwa kontulakiti wonna wamu ejja kuweebwa obukadde bwa doola 600, era eweebwe n’obuyinza okusolooza ssente okuva mu luguudo luno nga luwedde okumala ebbanga lya myaka 30.

Ebyo nga bikyali awo, Kagina asambazze ebyafulumidde ku mikutu gy’amawulire nti UNRA egenda kuggibwaawo nti si bituufu kubanga ye ng’agikulira, tannaba kufuna kiwandiwandiiko kyonna mu butongole kiraga nti ekitongole kino kyakuggalwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.

Funa 220x290

Okukkiririza mu Katonda kizza laavu...

OMUWALA yenna kasita akula, kibeera kitegeeza nti alina obulamu bw’alina okuvaamu ate adde mu bulala ne gye biggweera...

Tuula 220x290

Mukwano gwange yansigulak

NZE Hakim Male nga mbeera Kireka Railway mu munisipaali y’e Kira. Siryerabira mukwano gwange gwe nali mpita owange...

Funayo1 220x290

Omuyizi alumirizza omusajja okumuwamba...

POLIISI y’e Matugga ekutte n’eggalira omusajja agambibwa okutaayizza omuyizi abadde agenda ku ssomero n’amuwamba...

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...