Agambye nti buli mmotoka bw’otogifaako, esobola okukufuukira ekizibu.
Naye bino wammanga bye bimu ku bika by’emmotoka omuntu by’alina okufaako ennyo kuba mmotoka za bbeeyi kyokka nga za ntondo nnyo.
Pajero:
Kino kika kya Mitsubishi. K’ebeere ya petulooli, yo teyitwako saaviisi. Singa ekulema okukola saaviisi mu budde bwayo yingini efa.
Sipeeya waayo mutono era abazirina we basinzira okusimba awaka kuba n’okugitunda tetambula. Bw’ofuna omuguzi akuwa ssente ntono.
Chariot:
N’eno Mitsubishi. Teyagala nfuufu ate okugigula ya bbeeyi. Sipeeya waayo wa buseere.
Challenger:
Mmotoka eno yeetaaga obukugu bwa maanyi okugikanika ate nga bamakanika ba kuno abasinga tebalina bukugu.
Erina akajegere ka tayimingi ate si buli makanika nti akasobola.
Honda CRV:
Omujapan yagikola okuva wansi okutuuka waggulu nga ya Aluminium.
Lwaki ebika bya mmotoka zino bitawaanya baddereeva Honda CRV bw’ecamuka kizibu okugikola n’etereera.
AMAKULU G’OBUPANDE BW’OKU LUGUUDO
Kano kasimbibwa ku luguudo okulabula nti mu maaso waliyo akabi; Okugeza akabenje, oluguudo olubomose, waliwo ekidduka ekifiiridde mu kkubo.
Bw’okola akabenje ng’omaze okulabulwa osasula engassi ya 250,000/- oba okusibwa emyezi esatu.
Singa tofaayo kugikebera mazzi n’ogivuga n’ecamuka, buli kitundu kyonooneka.
Etandika okutta buli kyuma mu yingini era bangi abazirina abazeesonyiye. Yeetaaga okubeera omwegendereza ennyo ng’ogiguze.
Nissan Xtrail:
Eno yeezira bisirikko kuba wansi waayo mu ‘suspension system’ baagikola nga ya Aluminium.
Buli lw’okuba ebinnya ‘suspension’ ebaluka ate okugigula weetaaga kakadde kalamba. Singa buli wiiki ‘suspension’ efa kitegeeza olina kufulumya kakadde!
Nissan March:
Eno yakolebwa nga ya masannyalaze mangi. Bw’eba efudde olina kunoonya galagi erimu kompyuta okuzuula ekirwadde.
Ne sipeeya mutono mu ggwanga era abamu batumya mutumye ate ng’ali ku bbeeyi. Ky’ova olaba ng’abazirina bazeevuma era batono abazivuga.
Mazda: Eno mmotoka nnungi naye yagaana okuganja mu Bannayuganda.
Abagirina bagikaaba olwa sipeeya atalabika ng’oluusi bamakanika bayiiya muyiiye okumussaamu ekiviirako omuntu okwetamwa.
Sipeeya wa mmotoka eno omutuufu alina kutumwa mitala w’amayanja ate ng’ali ku buseere.
Bw’ossaamu atali waayo, osobola okutta ebirala.