TOP

Ebintu ebikulu 4 by’olina okukola ng’ovuga ekiro

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2018

Ebintu ebikulu buli muvuzi wa mmotoka by'alina okumanya ng'avuga ekiro.

Motoristsshouldcleantheirlightsregularlysothattheycanseeclearlyatnightwebuse 703x422

Ddereeva ng'alongoosa endabirwaamu z'ettaala za mmotoka ye

Bya Stella Naigino

Abantu abasinga okucakala ekiro bakozesa mmotoka era ng’abamu bavugiza kimama ekivaako obubenje.

Kino kiva ku kukola nsobi era nga bamenya n’amateeka agafuga ebidduka ku nguudo.

Erimu ku tteeka lye basing okumenya lya kuvuga nga bataddeko amataala gonna era nga kino kitaataaganya engeri abavuzi abalala abakozesa oluguudo.

Wadde ng’olumu okulaga ng’ovuga ekiro kiba kizibu, abavuzi b’ebidduka balina okufaayo okulaba nga tebamenya mateeka.

Dr. Steven Kasiima, akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga agamba nti, enguudo ezisinga mu kibuga zirina amataala era nga gano galiwo kuyamba bavuzi ba bidduka kulaba gye balaga naddala ekiro.

 rimu ku ttaala zemmotoka eryaka kyenvu Erimu ku ttaala z'emmotoka eryaka kyenvu

 

Alaga avuga ekidduka ekiro by’asaana okukola okwewala obubenje.

  1.  Faayo okulaba ng’amataala go gakola bulungi:

Abavuzi b’ebidduka abasing tebafaayo kukebera mataala gaabwe kulaba nga gaaka bulungi era abasinga kino bakimanya bamaze kufuna buzibu.

Amataala bwe gaba gagubye, osobola okugatwala ne bagooza nga tonnayagala kugakyusa.

Ekyo bwe kigaana, gakyuuse olwo oleme kufuna buzibu ng’ovuga.

 ttaala eryaka kiragala Ettaala eryaka kiragala

 

  1.  Beera n’ettaala eya sipeeya:

Nga bw’obeera n’omupiira gwa sipeeya, okwekuumisa balubu ya sipeeya nakyo kikuyamba naddala ng’otera okuvuga mu kiro.

Kino kikuyamba ssinga balubu z’emmotokayo zikuba ng’ovuga osobola okussaamu endala.

  1.  Tovuga ng’amataala ogamazeeyo:

Amataala ku mmotoka gayamba abavuzi okulaba ekiro nga bavuga n’emmotoka endala okumanya nti gye bagenda waliyo emmotoka ejja. Wabula kino tekyetaagisa kuvuga na mataala ng’ogamazeeyo kubanga kino kitaataaganya endaba y’abavuzi b’ebidduka ebirala.

  1.  Tovuga ku misinde gya waggulu:

Olumu oyinza obutamanya bulungi kkubo ly’ovugirako nga bw’ovuga ku sipiidi eya waggulu oyinza okutomera noolwekyo kyewale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.