TOP

Ensonga lwaki abakazi batya okutwala mmotoka zaabwe mu galagi

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2018

Abakazi bangi tebamanyi bikwata ku mmotoka zaabwe ekivaako okubbibwa bamakanika. Makanika omukyala akuwadde amagezi ku kwewala obuzibu buno.

Ffunamakanikaasuukamwomukijjakukuyambanyowebuse 703x422

Bamakanika nga beekebejja mmotoka

Bya Stella Naigino

Omukyala Florence Amogin avuga mmotoka ya Premio okumala emyaka 10, naye buli mmotoka ye lw’eyonooneka, alinda omwami n’agimutwalira mu galagi okugikanika.

Agamba nti, ekimukozesa kino butasobola mbeera  za bamakanika. Olwa tekinologiya akyukakyuka buli kiseera, bamakanika bongedde okwonooneka kuba beeyongedde okubba.

Amongin tali yekka, abakyala bangi tebettanira kutwala mmotoka zaabwe mu galagi olw’ensonga zino ze bawa:

 lorence mongin Florence Amongin

 

  1. Galagi zajjula bamakanika bassajja:

Joy Nabirye ng’ono avuga mmotoka y’ekika kya Wish agamba nti, galagi ezisinga zajjula  bamakanika basajja era nga bw’otuukayo batera okukubuzaabuza basobole okukuseererako n’okukubba olw’okuba oli mukyala ate bangi balowooza tetumanyi.

  1. Bamakanika beefunira abakyala: Bamakanika abamu bwe balaba abakyala bongeza ebisale by’ebyuma bye bagamba nti byonoonese n’oluusi okuggyamu ebiramu ate ne bazzaamu ebifu.
 oy abirye Joy Nabirye

 

3. Abakyala abasinga tebamanyi bya mmotoka: Yasin Mwanje, ono makanika agamba nti abakyala abasinga tebamanyi bikwata ku mmotoka ze bavuga era babbibwa nnyo bamakanika abamu naddala abatali batendeke ne ku buntu obutono.

Eky’okukola

Annet Kasozi, makanika wa mmotoka nga mukyala makanika wa mmotoka agamba nti abakyala ky’ekiseera batandike okufaayo okumanya ebikwata kummotoka zaabwe nga bwe bazitwala okuzikanika tebalimbibwa bamakanika.

 mukyala ngatutte mmotoka ye mu galagi Omukyala ng'atutte mmotoka ye mu galagi

 

Ekirala, kiyamba omuntu okubeera ne makanika asukka mu omu, kino kikuyamba okumanya ani mutuufu bwe bituuka ku ssente z’ebyuma by’emmotoka.

Wabula mu kufuna bamakanika, mwegendereze kubanga abafere bangi, ajja kukukolera ekintu eky’ebbeeyi entono naye ng’akufeze,” Kasozi bw’awabula.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente