TOP

Mmotoka ezigenda okwettanirwa mu 2019

By Samuel Balagadde

Added 3rd January 2019

OMWAKA 2018 gubaddemu okusoomoozebwa mu by'ebidduka naddala enteekateeka ya Gavumenti ey'okuwera ezimu ku mmotoka ezisussa emyaka 15 okuva lwe zaakolebwa obutaddamu kuyingizibwa mu ggwanga.

Moto 703x422

Ezimu ku mmotoka ezaawerebwa okuyingizibwa mu ggwanga okuva nga October 1, 2018 ate nga zettaniddwa nnyo kuliko; Totota Premio (1996-2001), takisi ekika kya Kigege ne Toyota Prado TX.

Kyokka yadde tezikyayingira, mu bibanda bya mmotoka mwe ziri era zigenda kwettanirwa mu 2019.

Toyota Premio enkola enkadde n'empya okuva mu mwaka 2002 okudda waggulu zibadde za ttunzi okumalako omwaka gwonna era abazirina beeramula.

Wabula Toyota Wish ng'eno yaakatandika okwala mu Bannayuganda nga zaatandika okukolebwa mu 2003 era eno y’emu ku mmotoka ezitagenda kusala baguzi mu 2019.

Era bw’oyagala okugyeggyako osobola okufuna omuguzi mu bwangu ate nga tekusaze ssente nnyingi nga bwe kiri ku bika bya mmotoka ebimu.

James Mawejje owa Associated Motor Dealers - 2015 agamba nti Toyota Wish ekigifudde ey'ettunzi okukira endala kivudde ku kuba nti ya bbeeyi.

Agamba nti, Toyota Wish osobola okufuna ey'obukadde 23 ate nga mmotoka ya famire etwala abantu musanvu nga ne yingini yaayo ekekkereza amafuta wadde ng'abamu batandise okugiggya emize olw'okuba eringa ekipapula ng'ekooneddwa.

Francis Kanaakulya omwogezi w'ekibiina kino agamba nti, mmotoka ekika kya Kigege enkola enkadde eyakazibwako erya Kitimba y’emu ku bika ebisinze okutunda mu mwaka 2018 wadde nga ginnaayo enkola empya okuva mu mwaka gwa 2005 okudda waggulu kati ezikkirizibwa okuyingira mu ggwanga bbeeyi yaayo eri wansi ddala.

Agamba kikege enkola empya eyakazibwako erya ‘Tube’ oba ‘Drone’ wadde ebadde tennannyikira mu Bannyuganda naddala abali mu mulimu gwa takisi, mmotoka eno nnungi singa ekola ebyo ebyetaagisa okugeza okunywa amafuta ku masundiro ageekakasibwa, galagi ennungi ne kalonda omulala.

Kigege enkola empya ziri wakati w’obukadde 60 ne 65 ate enkola enkadde ekika kya Kitimba ziri wakati w'obukade 70 ne 75 ate nga mu bibanda ebimu tezikyalabika nga kino kitegeeza nti oba olina okusalawo ku kika ky’ogenda okutwala.

Mmotoka endala ezikyali ku ttunzi mulimu Toyota Spacio enkola empya okuva mu mwaka gwa 2002 okudda waggulu, ng'eno bagyegomba lwa kukekkereza mafuta ne ssente zeegula nsaamusaamu.

Toyota Vitz enkola enkadde eno bagyegombako kukekkereza mafuta. Ate Toyota IST wadde ebadde ng'ekyali mpya ku nguudo za Uganda, abantu omwaka we guggweereddeko nga batandise okugyeyunira olw'okukekkereza amafuta ng'eno eri ku bukadde 23.

Toyota Prado TX okuva mu mwaka gwa 1996-2002 zino ze zimu ku bika by’ezo ezaawerebwa obutaddamu kuyingizibwa mu ggwanga wabula mu bibanda zikyaliyo.

Waliwo n'ebika bya mmotoka ebirala ebipya nga bya bbeeyi okuli; Toyota Land Cruiser VX, Totota Lexus, Toyota Harrier Kawundo n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...