TOP

Emmotoka ezikwamidde ku mwalo e Mombasa zibatabudde

By Samuel Balagadde

Added 21st February 2019

MMOTOKA za Bannayuganda ezigwa mu ttuluba ly’ezo ezaawerebwa obutaddamu kuyingira mu ggwanga eziri ku mwalo gw’e Mombasa mu Kenya buli lukya zeeyongera bungi wabula ng' ekitongole ky’omusolo mu ggwanga ekya URA, minisitule y’obusuubuzi n’amakolero ssaako n’abasuubuzi baazo bakyalemeddwa okutuuka ku kukkaanya ku kiki ekigenda okukolebwa.

Baka 703x422

Stephen Magera omumyuka wa kamisona mu URA.

Abasuubuzi bagamba nti mmotoka ezisukka mu 1,000 zikwamidde ku mwalo e Mombasa ng’abamu ku bannanyini zo essuubi erizinunula lyabaggwaamu olwa ssente kati ezibanjibwa omwalo guno kuba bw’ozisasula oba tolina ky’ofunamu.

Francis Kanakulya, omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ba mmotoka mu ggwanga ekya Associated Motor Dealers -2015 (AMD) agamba nti omu ku basuubuzi bannakibiina aweza mmotoka 45 ezize ng’omuntu ezaakwatibwa e Mombasa wabula ng’enteeseganya zonna wakati wa URA ne minisitule y’obusuubuzi tezinnavaamu kiramu.

Mmotoka za Bannayuganda nnyingi ng'ezimu zaali tezinnayingizibwa ku mikutu gya URA ogw'ebyempuliziganya zikwamidde ku mwalo guno ng'abamu ssente ezibabanjibwa zeetumye nga kati zisinga ne ssente ze basuubira okuzitunda," Kanakulya bwe yagambye.

Yagasseeko nti wadde nga mmotoka za buyonjo ezisussa emyaka 15 bukya zikolebwa zaawerebwa obutaddamu kuyingizibwa mu ggwanga okuva nga 1 October omwaka oguwedde, waaliwo okukeerewa kw’emmeeri okwatikkibwa mmotoka zino ne zitatuukira mu budde bwali bukkaanyiziddwaako.

Wabula Stephen Magera omumyuka wa kamisona mu URA avunaanyizibwa ku mirimu gy’obusuubuzi yagambye nti obuzibu bwa mmotoka ezaakwatibwa ku mwalo e Mombasa babumanyi era bagezaako okubusalira amagezi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...

Godfreybangirana678381 220x290

Kkooti eragidde ofiisa wa poliisi...

KKOOTI enkulu ewozesa emisango gy’engassi eragidde dayirekita w’ekitongole kya poliisi ekikola ku by’okugula ebikozesebwa...

Abamukubaakwatiddwa3 220x290

Poliisi ekutte 30 mu kikwekweto...

Paul Kibuuka ssentebe wa Kiggundu zooni yategeezezza nti obumenyi bw’amateeka buba ng’obukendeeramu mu kitundu...

Kawesi 220x290

Abavunaanibwa mu gwa Kaweesi beeyanjudde...

Bano baali baakwatibwa oluvannyuma lw'ettemu mu bitundu by'e Kkulambiro gye battira omugenzi Kaweesi mu 2017.