TOP

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina kusussa

By Samuel Balagadde

Added 21st February 2019

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka 96, abakugu bavuddeyo ne bawa endowooza ey’enjawulo ku mateeka agafuga ab’ebidduka ku myaka omuntu kw’alina okukoma okuvuga.

Wanga 703x422

Hajji Kironde ng’ali ku mmotoka ye ekika kya Datsun eyakolebwa mu mwaka gwa 1972 gy’avuga.

Wadde nga mu Bungereza etteeka liri nti buli muntu bw’aweza emyaka 70 aba alina okuzza pamiti obuggya buli luvannyuma lw’emyaka esatu oluvannyuma lw’okumwekebejja embeera ye ey’obulamu.

Kino kijjidde mu kiseera nga ne Uganda eri mu kattu ke kamu kuba tewali kkomo ku myaka ba ddereeva kwe balina okukoma okuvuga mmotoka ku nguudo naddala ku mmotoka za buyonjo.

Wabula Kharim Kibuuka omukugu mu kwekebejja ebidduka mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula yagambye nti okunoonya ebirowoozo by’abantu ku bbago ly’ennongoosereza y’etteeka erifuga ebidduka n’okulwanyisa obubenje ku nguudo mwalimu ekirowoozo kino, wabula kyasuulibwa oluvannyuma lw’okwebuuza ku mawanga ag’enjawulo.

Kyokka yagambye nti eri baddeereva abavuga mmotoka ezisaabaza abantu, bbo etteeka lyaggwa era nga likola nga balina kukoma ku myaka 65 okuva ku 35 eri abo abavuga bbaasi ezisaabaza abantu balina kukoma ku myaka 60.

Bbo abavuga takisi okuva ku zitikka abasaabaze 7 okutuuka ku 20 bava ku myaka 25 okutuuka ku 65 ate abo abatandika okuvuga mmotoka ne pikipikiu balina okuba nga baweza emyaka 18 egy’obukulu.

Wabula Paul Kwamusi omukugu mu by’entambula era nga y’akulira kkampuni ya Integrated Transport Systems agamba nti okussa ekkomo ku myaka omuntu kw’alina okukoma okuvuga mmotoka kyetaagisa kubanga kaabukulu asomba bingi.

Yagambye nti buli muntu bw’aweza emyaka egisukka mu 60 abamu baba batandise okufuna ekifu ku maaso nga baba n’obuzibu mu kulaba naddala mu budde bw’ekiro oba okuvugira mu kalippagano k’ebidduka, abamu baba batandise n’okufuna endwadde ezigenda n’obukadde nga bamira eddagala nga tebeetaaga kuvuga kiseera kiwanvu kuba libanafuya omubiri.

Yategeezezza nti mu mawanga agamu mmotoka ezivugibwa abantu abakaddiye zissibwako akapande emabega akalaga nti zivugibwa bantu ba njawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Looya alaze engabana y’emmaali...

Looya alaze engabana y’emmaali

Kip3 220x290

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane...

Ekisiikudde muka Bukenya baawukane kati

Kip2 220x290

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa...

Muto wa Owen Kasule aziikiddwa

Hot3 220x290

Maama bangi be wasigamu ensigo...

Maama bangi be wasigamu ensigo ey’okwagala Katonda

Hot3 220x290

Twakufuna nga kirabo okuva eri...

Twakufuna nga kirabo okuva eri Omutonzi