TOP

Omuvubuka ayogedde ekimwagaza okuvuga mmotoka enkadde

By Musasi wa Bukedde

Added 6th March 2019

Omuvubuka omuto wuuno ayogedde ekyama ekiri mu kuvuga mmotoka enkadde

Okello3webuse 703x422

Okello ng'atudde ku mmotoka ye enkadde mu mwoleso ogumu og'emmotoka enkadde.

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abantu naddala abavubuka bettanira kuvuga nnamba mpya, naye Ben Okello yeeyagalira mmotoka nkadde.

Annyonnyola ekimwagaza emmotoka enkadde:

Nagula mmotoka ekika kya Fiat 127 era ng’eno buli mwaka ngitwala mu mwoleso gwa mmotoka enkadde.

Okuva obuto, taata yavuganga mmotoka enkadde ng’agamba nti ezo ze mmotoka omuntu z’avuga n’awulira nga ddala avuze emmotoka.

Bwe nakula ebigambo bya taata byansigala mu bwongo era nga nneesunga okugulayo mmotoka enkadde nkakase taata kye yayogeranga.

Mmotoka yange nagigula eri mu mbeera mbi ne ng’enda nga ngikolako mpola mpola.

mmotoka ya kello bwefaanana mundaEmmotoka ya Okello bwefaanana munda.

 

Engeri gye nafuna  Fiat, 1977 model

Lumu nali ntambula e Kyengera ne ndaba mmotoka enkadde gye baali basimbye okumala ebbanga ddene ne nsalawo okugyetegereza n’okulaba bannannyini yo ndabe oba bagitunda. Nasisinkana omwami Wilson Sserukeera n’aginguza ne ntandika okugiereeza mpola kuba yali nfu.

 

Bye nkyusizza

Yingini ya mmotoka eno yali yayonooneka era nagula mpya. Emipiira nagyo gyali gyayonooneka era nagyo nagula mipya. Nagifuuwako langi empya erabike bulungi.

Nnaakagisaasaanyizaako obukadde buna. Ekozesa petulooli nga yingini yayo erina cc 900.

Mmotoka enkadde yeeyagaza ate ngumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera